Amawulire

Cecilia Ogwal  ekirwadde kimukutudde.

 

 

Cecilia Barbara Atim Ogwal afudde enkya ya leero.
Ogwal afiiridde ku myaka 77.
Amawulire agava mu famire galaga nti Ogwal afiiridde mu ggwanga lya India ng’abadde atawanyizibwa obulwadde bwa Kkansa.

Cecilia Ogwal yazaalibwa mu disitulikiti y’e Dokolo nga 12, June, 1946.
Yasomera mu Uganda wabula ku myaka 21, yafuna omukisa okugenda mu University of East Africa mu Nairobi (kati emanyikiddwa nga University of Nairobi) okusoma diguli mu by’obusuubuzi.

Yasomerako mu nsi endala omuli Singapore ne Australia ebintu eby’enjawulo.
Ebyobufuzi abiruddemu

Yakolako ng’omuwandiisi w’ekibiina ki Uganda People’s Congress (UPC) okuva 1985 – 1992

Mu 1994, yali kakiiko akabaga sseemateeka wa Uganda owa 1995.

Yali mu bifo ebyamaanyi mu UPC okutuusa mu 2004.

Mu kulonda kwa 2006, mutabani w’omugenzi Milton Obote, Jimmy Akena, yamuwangula ku ky’omubaka wa Monisipaali y’e Lira.

Mu 2011, Ogwal yaddamu okuvuganya era yawangula eky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Dokolo.

Okuwangula, yava mu UPC okudda mu Forum for Democratic Change (FDC).

Ogwal abadde mukyala mufumbo n’abaana 7.

Wabula mu 1969, ku myaka 23, yawangula obwa Miss Uganda.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top