Omuyimbi Jose Chameleone olumulongoosezza ne bakubira Katikkiro wa Uganda,Robinah Nabbanja akasimu ku z’eddwaaliro.Omuyimbi ono amaze ebbanga ng’alumizibwa mu lubuto era abasawo baludde nga bamuwa amagezi alongoosebwe.
Ekitawaanya ennyo bagamba nti yalwala akalulwe akaamuviirako amazzi okuyiika mu lubuto.Bagattako nti kyali kimwetaagisa kulongoosebwa kyokka ng’amawanga agakisobola matono nga kigambibwa nti abakugu abasobola okukikola bali mu America.
Ekizibu kya Chameleone kimaze emyaka egisukka ebiri ng’akimanyi era ng’anoonya bw’akiyitamu.Omwezi oguwedde,Chameleone yagenze mu America gye yavudde okugenda e Jamaica gye yabadde aliira obulamu.
Eno gye yavudde okudda mu America nga kigambibwa nti gy’ajjanjabirwa kati.Mikwano gye nga ba bamu ku bayimbi ab’amaanyi mu ggwanga,bali mu nteeseganya ne Gavumenti okulaba bw’eyinza okumukwatirako ku bya ssente ezeetaagisa ezigambibwa okuba emitwalo 10 egya doola(369,190,400).
Kigambibwa nti baasoose kutuukirira Katikkiro Nabbanja olw’onbwangu bw’abadde atera okukozesa okuyamba abali mu bwetaavu.