Bwe yabadde ayogera mu lukiiko ttabamiruka olw’ebyokwerinda by’ensi yonna olwabaddewo ku Lwomukaaga eyabadde mu kibuga Munich ekya Germany, Minisita wa China avunaanyizibwa ku nkolagana n’amawanga amalala, Wang Yi yagambye nti obukulembeze bwa Pulezidenti wa America, Joe Biden bulina endowooza embi ku China nga yazimbibwa ku ppokoppoko America gw’eyongedde okutumbula.
Yagambye nti America ky’ekola kwe kusiiga China ekifaananyi ekibi eri ensi yonna kyokka nga China by’ekola busammambiro ku bibi America by’ezze ekola nga biteeka ensi yonna mu matigga kyokka nga yo tewali agigambako.
“Oyinza otya okuggyayo ennyonyi ennwaanyi n’osibako ne mizayiro nti okuba baaluuni, kino tekikkirizika, n’okutuusa kati nkiraba ng’ekirooto, so nga kyabaddewo,” Wang bwe yeewuunyizza.
Yayongeddeko nti baaluuni nnyingi eziri mu bwengula nga zisindikibwa ensi ez’enjawulo, ne yeebuuza nti buli emu America eneegenda egikuba eneetuusa wa? Kwe kubawa amagezi nti bafe ku bizibu byabwe ebiri mu Amerika, bave ku ky’okusosonkereza ensi ezitabaliiko nga China.
Wiiki nga bbiri eziyise ebyokulwanyisa ne kkamera enkessi mu Amerika bibadde bulindaala oluvannyuma lw’okugwa mu buufu bwa ki baaluuni ekyeru ekigambibwa nti kyali kigenda kiketta ebifo bya Amerika ebikolerwamu ebyokulwanyisa bya nukiriya nga kino tebaakikkiriza kweyongerayo ne baweereza mizayiro eyakikuba n’ekyabya.
China yakkiriza nti baaluuni yali yaayo wabula n’etegeeza nti yali egikozesa kwekenneenya bya mbeera ya budde so si kuketta nga America bw’egamba.
Ebya baaluuni we bijjidde, Minisita w’enkolagana ya America n’amawanga amalala, Antony Blinken yali ategese okukyalako e China kyokka olwabiwulira n’alusazaamu.