Amawulire

Col. Edith Nakalema: Engeri gye yasesemezza Alam ettaka n’okutaasa obutitimbe bwa ssente

Col. Edith Nakalema: Engeri gye yasesemezza Alam ettaka n'okutaasa obutitimbe bwa ssente

Col. Edith Nakalema akulira ekitongole ekirwanyisa enguzi n’obulyake mu State House azizza emitima gy’abantu e Mubende bwe yanyize omugagga Abid Alam ewaluma okukakkana ng’amusesemezza ettaka.

Nakalema era aliko ssente ezisoba mu buwumbi 26 zaasobodde okusuuza abalyake mu bbanga ery’emyaka ebiri gy’amaze mu kitongole kya state House Anti corruption unit (AH_ACU).

Diiru y’okusesemya Abid Alam ettaka erisoba mu sikweya mayiro bbiri e Mubende yeeyakulembedde ebyavuddeko ssaabawaabi wa Gavumenti okugya enta mu misango Gavumenti gyebadde evunaana Abid Alam mu mwezi ogwokutaano omwaka guno.

Abid Alam yali yakwatidwa Col. Edith Nakalema nga kigambibwa nti Abid yali atulugunyizza abantu ng’akozesa ssente, abaserikale ba poliisi ne bakanyama ne yezza mayiro ne mayiro z’ettaka.

Oluvannyuma lw’okusibwa e Kitalya, Abid Alam kigambibwa nti yeekubye mu kifuba n’asesema sikweya mayiro z’ettaka ne liddira abatuuze.

Col. Nakalema yategeezezza omusasi waffe nti “Nina essanyu nti Abid Alam yasesemye ettaka abatuuze ne bafuna obuweero”.

Yagambye nti wadde Gavumenti gyebuvuddeko yagye enta mu misango gya Abid Alam ye nga Col. Nakalema takirinaako buzibu kubanga ogugwe yagukola ogw’okumukwata n’okukuŋŋaanya obujulizi.

Mu mwezi gwokutaano omwaka guno DPP yagye enta mu misango egyabadde givunaanibwa nagagga Mahmud Abid Alam.

Ono y’abadde avunaanibwa okwekobaana n’abaserikale ne bamubbira ebyama bya poliisi okumulesa okukwatibwa n’okugenda mu maaso ng’akola ebikolobero n’abaserikale n’abakuumibe ku byalo e Mubende n’okusingira ddala e Bukoba ne Bukompe_Kassanda.

Omuwaabi wa gavumenti Jackline Keko, yategeezezza kkooti gyebuvuddeko nti mukamaawe DPP y’abadde abigyemu enta.

Alam y’abadde avunaanibwa wamu neWilber Osteen Wanyama ng’ono yeeyali RPC wa  Wamala Region e  Kasanda Disitulikiti, D/SP Wanyama, D/ASP Peter Baitera Muhanuza n’abalala.

Ebyo nga bikyali awo waliwo ssente ezisoba mu buwumbi 26 Col. Nakalema zaanunudde mu balyakuzi abatali bamu.

Zino kuliko obuwumbi 8.65 ze yanunula mu bubbi bwa covid 19 mu ofiisi ya ssaabaminisita,obuwumbi 3.6 ezaali zigenda okunyagibwa mu by’okusengula abantu e Bukasa,akawumbi kamu n’obukadde 500 ezaali zinyagiddwa aba Middle East consultants ne bannaabwe mu by’okutwala abantu ebweru n’endala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top