Amawulire

David Lutalo alabisiza aba People Power.

Omuyimbi David Lutalo alaze nti mwetegefu okulwana entalo zonna kyokka agenda kweyambisa ekitone ky’okuyimba.

Okuva ku wikendi, bangi ku bavubuka bavuddeyo ne balumba Lutalo mbu yayogedde ebigambo ebityoboola ekitiibwa kye.

Lutalo bwe yabadde ku kivvulu ekimu, yagambye nti, bannayuganda balina okwewala abantu abali mu kutambuza ebigambo ebigendereddwamu okwawula bannayuganda.

Agamba bannayuganda balina okutambulira awamu nga tewali nsonga yonna erina kubawula.

Lutalo agamba nti simunnabyabufuzi wabula alina okweyambisa eddoboozi lye, okulaga bannayuganda ekituufu.

Oluvanyuma lw’abantu okumulumba ennyo n’okusingira ddala ku mikutu migatta bantu, yasuubiza okweyambisa omuziki okubasirisa.

Mu kiro, Lutalo asobodde okufulumya oluyimba, “Babongoote“.

Mu luyimba ‘Babongoote’, Lutalo agamba nti wadde waliwo abantu abamwagaliza obubi, asabye omutonzi abawe ebirungi okusinga okudda mu kutigomya abalala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top