Amawulire

Distulikiti ye Mukono elimukatu telina Kakiiko kagaba mirimu

Distulikiti ye Mukono elimukatu telina Kakiiko kagaba mirimu

Bakansala basimbide ekuuli ekiteeso kyo okweyazika akakiiko  okuva ewalala. Kino kyadiride bakansala okusimbira ekuuli okuyisa ekiteeso  ekiriza disitulikiti  eno okwewala akakiiko akabaga emirimu  okuva mu distulikiti  ezilinanyewo nga kino kyaletedwa ssentebe  wa distulikiti eno  Rev. Peter Bakaluba Mukasa.

Mulutuula okwaliwo nga 27 omwezi oguwedde ssentebe wa disitulikiti  ye eMukono Bakaluba  Mukasa yaleese ekiteeso mu kanso nga asaba bakansansala bakirize disitulikiti  yeyazike akakiiko akabaga emirimu  okuva mu distulikiti ezilinanyewo nga Buikwe oluvanyuma lwokulemererwa  okulonda abakiise mukakiiko  kano.

Okusinzira  ku Bakaluba  ategezezza  kanso nti mukisera kino distulikiti  eri mukaseera akazibu olwe ekiseera  lye maze nga telina kakiiko kano kuba tebasobola okuyingiza abakozi bapya  atenga waliwo office ezetagamu abakozi.

Ono agamba nti naye kimuluma nyo okuba nga disitulikiti telina kakiiko ate nga yalonda akakiiko  bakansala nebakamugobya.

Bakansala bagamba kyansonyi nyo disitulikiti  okwewala akakiiko nga esobola okulonda akaayo nti era bano gamba nti tebalina bumativu  obanga akakiiko kanatunulira bana Mukono  mukusaba emirimu

Wano CAO James  Just a ategezezza  nga bwatayiza ku okuyingiza bakozi nga talina kakiiko okusinziira kuteeka era nti eteeka oliwa obuyinza  disitulikiti  okweyazika akakiiko koona okuva mudisituliki  ezilinanyewo singa waberawo bwetavu.

Kinajukirwa nti kuntandikwa ye ekisanjja kino Bakaluba yaleeta amanya ga abantu neyali alonzeokukulira akakiiko kano kyoka.bakansala nebagoba elinya lya Mwami Muguluma nga bagamba nti ono elinya lye lyaali lileteddwa mubukyamu

Okusinzira kuteeka, akakiiko kalondewa Ssentebe nga oleeta amanya ga abantu 3 nga omu kubo aba alondeddwa okuva mubibuga ebiri mu distulikiti  Bakaluba kyeyakola nga Mwami Muguluma yali tasindikibwangako  babibuga era bakansala nebamumugobya adeyo aleete elinya edala ekintu ekyanyiza Bakaluba amanya nagagyayo gonna yeyali aleese. Kyoka oluvanyuma abakulembeze  babibuga balonda omuntu ate Bakaluba namugaana.

Wabula Bakaluba  yategezezza  nti ekimulemeseza okuleeta amanya abalala kwekuba nti abamu kubalondebwa kukakiiko bagenda nebamuwabira ku minisitule era nti tasobola kulonda nga minisitule  tenasalawo kunsonga ezatwalibwayo.

Wabula kino tekyalobede  bakansala kusimbira kuuli kiteso  nga bagamba nti  Kisoboka okufuna kanso eyekiseera nebafuna  akakiiko era ekiteeso  ne yiyibwa  wakati mukusoberwa kwa ssentebe  Bakaluba.

Kansala Kalinda alumiriza nti ekibalemeseza ensonga eno ye ssentebe ne sipiika nga singa bakwatagana ensonga esobola okunogerwa edagala akakiiko nekalondewa.

Kansala Mbonye Emmanuel  omu kubakansala abalude mu kanso ya disitulikiti  agamba nti kyakuomooza era kikwansa ensonyi okuba nga Mukono yeyazike akakiiko akabaga emirimu wano wasabidde ssentebe yetereze alonze akakiiko kano emirimu gisobole okutambula.

Singa disitulikiti  esigala  nga telina kakiiko kano, disitulikiti  yandilemererwa okuwandisa abakozi nga ne ekiseera kino eddwaliro  lya Mukono General Hosipital lyetaga okuwandisa abakozi.

Ensonga yajuride mukanso edako okulaba nga ssentebe oleeta amanya akakiiko alondebwe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top