Amawulire

Dr. Kawanga awabudde bannakibiina kya DP.

Eyaliko Ssenkaggale w’ekibiina ki Democratic Party DP,  Dr. Paul Kawanga Ssemwogerere awabudde bannakibiina abalemeddwa okutuuka ku kukkaanya ne Ssenkaggale aliko Nobert Mao bagende mu kkooti esalewo eggoye ku nsonga ezibaluma.

Dr Kawanga era ategeezezza nti ensonga eziri mu DP ziriko azikumamu omuliro nga alabika alina ekkobaane okulaba nti ekibiina kino kisaanawo.

Bino webijjidde nga DP ewezezza emyezi 2 miramba nga eyingidde mu ndagaano nekibiina ki NRM okusobola okutambulira awamu era nabamu ku bakulu baayo okuli Nobert Mao ne Ssaabawandiisi Gerald Siranda  baweebwa ebifo wansi w’omukago guno.

Kino kyatabula bannakibiina nga abamu bagamba nti Pulezidenti Museveni ayise mu Mao okusobola okusanyaawo ekibiina kyabwe ekimaze emyaka nebisiibo.

Ssemogerere agamba nti wadde okuteesa kwekusaana okusooka okulowozebwako, ebirumira mu bukulembeze bw’ekibiina bikyali bingi nga n’endagaano eyogerwako mpawo amanyi bituufu bigirimu.

DP emaze ekiseera ng’eri mu ntalo z’obukulembeze bw’ekibiina era waliwo okutya nti singa endagaano eyogerwako essibwa mu nkola yandikonzibya  ekibiina ekisusse naddala mu kitundu kya Buganda gyesibuka.

Ye munnamateeka wa DP, Richard Lumu agamba nti ebize bikolebwa biri bweru wa mateeka nga kibiina era mu kiseera ekituufu byakusabululwa.

Lumu annyonnyodde nti kyekiseera ebibiina okugatta amanyi okulwanyisa enkola enafuya ekibiina kubanga  kikoze kinene okulwanirira enfuga y’ amateeka ne Demokulaasiya mu ggwanga.

Wabula Pulezidenti wa DP era Minisita wa Ssemateeka Norbert Mao bano yabategeeza nti endagaano eno yagendereddwamu kusitula kibiina kya DP kisobola okutandika okweteekerateekera okukwata obuyinza.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top