Akakiiko akavunaanyizibwa ku by’okulonda aka Uganda Electoral Commission kafulumizza enteekateeka z’okulonda okwa 2026, kwakubaawo okuva nga Monday 12 January 2026 , okutuuka nga 9 February 2026.
Bissiddwa mu nnambika y’akakiiko k’okulonda ey’emyaka 5, eya 2022/2023 okutuuka mu 2026/2027.
Okuwandiisa abanesimbawo ku bifo by’ababaka ba parliament kwakubaawo ku Tuesday nga 16 ne 17 September 2025.
Abaneesimbawo ku bwa president bakwewandiisa ku Thursday 2nd ne Friday 3rd October 2025.
Abaneesimbawo ku bifo bya government ez’ebitundu bewandiisa ku Wednesday 3rd ne Friday 12th September 2025.
Abaneesimbawo okukiikirira ebibinja ky’abantu abenjawulo ( special interest groups ) bewandiisa ku Monday 8 okutuuka ku Friday 12 December 2025.
Ssentebe wa Electoral Commission omulamuzi Simon Byabakama atongozza ennambika eno, ku mukolo ogubadde ku Hotel Africana.
Agambye nti enteekateeka eno yakuwemmenta shs trillion 1,387,829,929#