Amawulire

E Moroto Omuwendo gw’abaana abakonzibye gweraliikirizza abakulembeze

Omuwendo gw’abaana abakonzibye ogulinnya buli lukya mu disitulikiti y’e Moroto mu kitundu ky’e Karamoja gweraliikirizza abakulembeze mu kitundu kino.

Dr. Steven Pande akulira eddwaliro lya Moroto Regional Referal Hospital ategeezezza nti abaana ebitundu 22.9% mu disitulikiti eno be bakonzibye olwendya embi era ng’ebyalo ebisinze okuyisibwa obubi kuliko Lorikowa mu ggombolola y’e Nadunget ne Tangadel mu ggombolola y’e Rupa.

Bino abyogeredde ku ddwaliro ly’e Moroto bw’abadde asisinkanye abakungu okuva mu kitongole kya United Nations Children’s Fund ne bannamawulire abali ku mulimu gw’okunoonyereza ku mbeera abaana abali mu kitundu kino gye bayitamu.

Dr. Pande anokoddeyo ebintu evivaako abaana mu bitundu bino okukonziba okuli; embeera y’obudde ey’ekyeya etasobozesa bantu kulima mmere, ebbula ly’amazzi amayonjo ekivaako abaana okunywa amazzi amacaafu n’obutanaaba mu ngalo ekivaako endwadde z’ekiddukano, obutabeera na kabuyonjo, endowooza enkyamu mu bantu. Ono agamba nti abasinga baalemeramu endowooza y’okubawa buli kimu n’ebirala.

Mu ddwaliro lino baateekawo ekifo we bajjanjabira abaana bano kyokka era nga wano abasawo bakola buli kisoboka okulaba ng’abaana bano batereera wabula ba maama b’abaana bano obuzibu babutadde ku bataata ababalekera obuvunaanyizibwa bw’okulabirira amaka.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top