Amawulire

Ebbula lya amazzi lyandibalukawo mukibuga Mukono olwa abagagga okusanyawo enzizzi

Ebbula lya amazzi lyandibalukawo mukibuga Mukono olwa abagagga okusanyawo enzizzi

Nemo enim ipsam voluptatem quia voluptas sit aspernatur aut odit aut fugit, sed quia consequuntur magni.

Wabalusewo okutya mu batuuze abawangalira mu municipali ye’Mukono oluvanyuma lwa abagagga abaze bazimba mukibuga Mukono nebasanyawo enzizi za amazzi ezasangibwaawo ezali ziwa abatuuze bano amazzi agobwerere abayambako mukola emirimo gyabwe egyabulijjo ekivirideko ebbula lya amazzi mu bitundu mwebawangilira okweyongera, kyoka ekibewunyisa nti abatwaala ekibuga kino besulideyo ggwanagamba kunsonga zzino.

Ekizibu kya’mazzi  kyeyongedenyo mu byaalo ebytolode ekibuga Mukono okuli Kigombya, Ngandu, Kilangira , Ggulu,Kikooza nawalala oluvanyuma lwabazimba makolero nebaziba ebifo ebiberamu enzizi sako nabantu kino omu abazimba zikabuyonjo nebazisembereza enzizzi.

Abatuuze betwogedeko nabo batutegezeza nti ekizubu kiviira ddala kubananyini ttaka abatunda ettaka nebatundiramu ne enzizi abagula tebafaayo nyo bweba batandise okukulakulya ebifo byabwe byebabaguze nga enzizi kwabatandikira okuziba basobole okuzimba. Abatuuze bongedeko nti tebasola miwendo gya amazzi ga national water egilinya bulilukya nengeri gyegavavako  nadala mubude obwomusana nga gano amazzi ge’nzizzi ge gandibayambyeko okutasa embeera.

Kyoka kino era abatuuze bakitadde ku abakulembeze abatwaala ekibuga Mukono abatafaayo ku nzizzi za’mazzi  nga bagaba plani ze ebizimbe nga neyasembyeyo ye ssentebe we’ekyaalo gwebagamba nti alina poloti gyeyatunze natundiramu no oluzzi abantu kwe babade bakima amazzi.

Kansala we ekitundu kino Babirye Bayati asabye bamusiga nsimbi nabagagga abagula ettaka omuli enzizi obutazisanyawo kubanga enzizzi zino ziyamba kinene rei abantu mibitundu.

Mayor wa municipali we’Mukono anatera okuwumula George Fred Kagimu kino akitadde kubantu abasazewo okuzimba muntobazi ekitakiribwa waddenga bo nga abakulira ekibuga bagezezako okulwanyisa omuze guno. Ono agamba nti bangi kubamusinga nsimbi abazimba amakolero bajja no olukusa okuva mu kitongole ekitwaala ebya amakolero muggwanga ekya “ Nationala Ivestment Authority” ono ayongerako nti nabe’kitongole kya amazzi Nationala Water baludewo nyo okutuusa emidumo egitambuza kazambi mukibuga kye’mukono ekivirideko abantu okuyisa kazambi munzizzi.

Mayor Kagimu agamba nti wande nga guno guligutyo amazzi agava munzizi tegakyali mayonjo bantu kukozesa oluvanyuma lwa abantu okuzimba kabuyonjo kumpi nazo nga  okumanya kino bageza okupiima amazzi gano nga bagesereza ku nzizzi 20 kwe amazzi ge enzizzi 18 gali tegatukana namutindo.

Kagimu agenze mumaso nasaba abe’ ekitongole ekibunyisa amazzi muggwanga okutekawo tap ezolukale mubitundu abantu gyebasobola okufuna amazzi agatali ga busere  ono era ayagala  elowoze kukyokuzimba  amayumba agatali gabusere kibasoboze okyusa embera yobulamu bwabwe.

Ekibuga kye’Mukono kyekimu ku bibuga ebito ebikulira kumisindde ezakayiri- yiri  olwa abagagga abayongera osengamu buli lukya nga bakulakulaya ekibuga wabula bangi kubano tebafudeyo kubintu bye sanga ebiyamba abantu ababera mubitundu bino.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top