Amawulire

Ebipya bizuuse lwaki omukyala yakubye bba amasasi mu kisenge.

 

Poliisi mu Kampala etandiise okunoonyereza ku ngeri omusuubuzi ate omugagga Henry Katanga gye yatiddwamu mu makaage.

Katanga abadde mutuuze w’e Mbuya Hill, Kampala mu Divizoni y’e Nakawa nga yattiddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna ku makya.

Okusinzira ku muwala w’omugenzi Katanga Tricia, kitaawe Katanga Henry myaka 61 ne nnyina Molly Katanga baludde nga balina obutakaanya.

Agamba olunnaku olw’eggulo, yawulidde nga bali mu kuyomba ku makya era amangu ddala yawulidde essasi nga livuga mu kisenge.

Okutuuka mu kisenge, nga kitaawe Katanga Henry agudde ku buliri, avaamu omusaayi mu mutwe nga ne nnyina agudde wansi ali mu mbeera mbi.

Omukyala Katanga Molly yaddusiddwa mu ddwaaliro lya IHK okufuna obujanjabi nga yatwaliddwa aba famire.

Mu kisenge, Poliisi yasobodde okuzuula emmundu ekika kya nnamba UG 16222 00061 CZ99 COMPACT.

Mu kiseera kino Poliisi eri mu kunoonyereza ekyavuddeko ettemu era waliwo abakwatiddwa, okuyambako mu kunoonyereza.

Kigambibwa Katanga okunoonya ennyo ssente, abadde yalemwa okuwa omukyala essanyu mu nsonga z’omu kisenge, ekyavaako omukyala okufuna pulaani B.

Omusajja okuzuula nti omukyala alina Pulaani B era afuna bulungi essanyu mu nsonga z’omu kisenge, y’emu ku nsonga lwaki baludde nga balina obutakaanya ng’omusajja alumiriza omukyala obwenzi.

Okusika omuguwa kuludde era kigambibwa omusajja abadde alina Pulaani okuddukira mu kkooti okusaba okusatulula obufumbo.

Omugagga Katanga abadde alina Kkampuni ekola ebintu eby’enjawulo era abadde alina bakasitoma okuva mu State House, SFC, Minisitule y’ebyokwerinda, Uganda Police, offisi ya ssaabaminisita, ekitongole ky’ennyonyi n’ebitongole ebirala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top