Amawulire

Ebipya ku musaayi ogwazuuliddwa mu mmotoka y’omusumba.

 

 

Ebitongole ebyokwerinda byongedde okunoonyereza ku bulumbaganyi obwakoleddwa Pasita Aloysius Bugingo n’okutta omukuumi we Kopolo Muhumuza Richard.

Pasita Bugingo, yakulembera ekkanisa ya the House of Prayer Ministries era yalumbiddwa akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri ku ssaawa nga 3 ez’ekiro nga 2, January, 2024.

Abatemu baakubye emmotoka ya Pasita Bugingo namba ‘PRAIZ GOD’ e Namungona, Zone 2 e Kasubi mu Divizoni y’e Rubaga mu Kampala ku nkulungo y’e Bwalakata ku luguudo lwa National Housing.

Muhumuza Richard abadde omukuumi wa Pasita Bugingo yafiiriddewo ate Pasita Bugingo wadde yalumiziddwa, yasobodde okuvuga emmotoka okudduka mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okufuna obujanjabi.

Muhumuza yaziikiddwa akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano kyalo Muguluka, e Bitakuli mu disitulikiti y’e Ssembabule.

Wabula mu kunoonyereza, Poliisi egamba nti yasobodde okufuna obutambi okuva ku kkamera eziri ku nguudo, obulaga entambula za Pasita Bugingo ku lunnaku lwe yalumbibwa, okwekeneenya byonna ebyaliwo.

Mungeri y’emu ne mmotoka, Pasita Bugingo gye yali avuga, yasindikiddwa ku kitebe kya Poliisi, ekinoonyereza ku misango e Kibuli okugyekeneenya.

Emmotoka yabaddemu ebituli 11 ebiraga nti bya masasi, ebituli mu mitto gy’emmotoka n’omusaayi munda mu mmotoka.

Omusaayi gwabadde mu ntebe, Muhumuza kati omugenzi mwe yali atudde n’okusingira ddala wansi webateeka ebigere n’omusaayi okumpi ne ggiya y’emmotoka.

Tekimanyiddwa oba omusaayi gwa muntu oba gwa bisolo wabula Poliisi egamba nti byonna egenda kubinoonyerezaako.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Pasita Bugingo yagiddwako sitetimenti, byonna okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top