Abakulembeze ba boda boda ne takisi batabukidde nebasaba gavumenti esooke abafunire ebitundu gyebagenda okukolera nga tenaba kuleeta kiragiro kibagoba mu Kampala kubanga okumala gabagoba kigenda kwongera obumenyi bwa mateeka mu gwanga bangi ababadde beyiyizza mu ggwanga bagyakuba tebalina mirimu
Kino kidiridde gavumenti okuvaayo negamba nti egenda kuwera okuyingiza boda boda mu ggwanga ate nabo abakola omulimu guno bagenda kuganibwa obutaddamu kuyingira mu kibuga okutekerateekara ekibuga Kampala okufuuka Smart City. Minisita omubeezi ow’ebyobusubuzi Harriet Ntabazi yavuddeyo nagamba nti gavumenti egenda kukendeeza ku piki piki za boda eziyingira mu ggwanga , bino webigidde nga KCCA eri mu kawefube w’okukendeza omugoteko mu kibuga omuli okugoba abatembeyi , okugya takisi ezitikkira mu ku nguudo zonna nezisindikibwa mu paaka.
minisita omubeezi owa Kampala Christopher Kabuye Kyofa togabye agambye nti KCCA yagobye abatembeyi ku nguudo okumalawo omujjuzo mu Kibuga okugyayo ekifaananyi kya Kampala Smart City eletwbwa Kampala afananeko nga ebibuga ebilala ebikulakukanye
Kabuye agambye nti balina byebatuuseeko wakati wa gavuemnti na bakulembeze ba boda boda era bataddewo obukwakulizo buli wa boda bwebalina okutukirizza nga ekiseera ky’okusindikirizibwa okuva munKibuga nga tekinatuuka mu June omwaka guno.bafune ne layisinsi ebakakasa okukola omulimu gwa boda webanamala okukola bino enkalala zabwe bazisindike mu minisitule y’obutebekenvu gavumenti etegeere omuwendo gwa boda boda oguli mu Kampala balabe engeri gyebagenda okuzigoba mu Kampala nengeri gyezinakolera mu bitundu gyezigenda okusindikibwa.
Ayongeddeko nti mu Kampala temugenda kusigala siteegi yonna eya boda zirina kukoma mu bitundu gyezihenda okwewandiisizza aye ne Bus zinatera okutandika ekitegeza nti ne takisi nazo ziri.mu lusuuno abazikoleramu batandike okwetegera embeera yabwe
Bosco Buziba agambye nti bagala gavumentinesooke ebatekeretekere gyebagenda naye wetakikla wagenda kuneerawo okutalo kubanga tebagenda kuva mu Kampala kubanga omukimubgwa boda boda gavumenti egutwala nga ekitagas.