Ababaka basazeewo endagaano y’e mwanyi esazibwemu. Ababaka abatuula ku kakiko akanonyereza ku ndagaano y’e mwanyi minisitule y’e byensimbi gyeyakaoze ne Yinvesita Enrica Pinetti bakanyiza edagaano eno esazibwe kubanga bakizudde nti yakolevbwa mu bukyamu era wewabaawo omukisa gw’okuyilira musiga bnsimbi ono kikolebwa gavumenti ne minisitule y’e byensimbi ekulemberwa Matia Kasaija kubanga bebatagobera mitendera mituufu nga bakola endaano eno.f
Ababaka nga bakulembeddwa ssentebe wa kakiko kano Mpaka Mwine bakizudde nti talina nsimbi era etaka lya yiika ezisoba 16 zebamu e Namanve azimbeko ekolera erigenda okususunsula emwanyi lyayagala okusinga mu bbanka yewolereko ensimbi ezizimba Factory , Lipooti eno esubirwa okusomebwa mu palamenti ku lw’okubiri
kinajjukirwa nti sabawolereza wagavumenti Kiryowa Kiwanuka yasinzide mu kakikko ka palamenti nagamba nti singa edagaano esazibwa musiga nsimbi alina okuyilirwa obutitimbe bw’ensimbe
Ekitongole ekivunanyizibwa ku mwanyi mu ggwanga ekya Uganda Coffee Development Authority (UCDA) kisambaze ebigambibwa nti nakyo kyetaba mu ndaaga y’e mwanyi eyakoleddwa ewa Yinvesita nanyini kampuni ya Vinci Enrica Pintti olukusa okutunda emwanyi n’okuzigereka ebeeyi.
Weyabadde alabiseeko mu kakikko k’ebyobusubuzi akanonyereza ku ndagaano eno akakulirwa Mpaka Mwine , Emmanuel lyamulemye akulira ekitongole kino yegaanye nagamba nti endaago yakolebwa kitongole kya byansimbi era bebamanyi nga bwetambula.
Omubaka wa Kaseke South Luttamaguzi Ssemakula agambye nti kitufu okusazaamu endagano eno kubanga abagikola balina ebgendererwa birala kugoba Buganda ku kirime ky’e mwanyi kubanga bakizudde nti emwanyi ebadde ezeemu okulimibwa kati bagala kufuna webaginafuyiza nga bwebazze bakola ebitongole ebilra byebasangawo nga bikola.
Abali b’e mwanyi nabo bagambye nti endagaano eno esazibwe kubanga ebyako obuyinza ku kirime kyabwe , okuwa omuntu omu okubeera nga yakola ku katale k’e Mwanyi kiba kigenda kubanyigiriza kibavirejko okudduka mu mulimu gw’okulima emwanyi.
Kinajjukirwa nti gavumenti yakola endaago ne musiga nsimbi okuva mu ggwanga lya Italy Enrica Pinneti nti yagenda nga okusalawo ku beeyi y;’e mwanyi n’akatale mu mawanga g’e bweru kyokka endagaano ezze eyogeza abalimi ne banna uganda amafuukule kubanga omuntu gwebawa diru ate omuntu y’omu yeyawabwe okuzimba eddwaliro lye Lubowa kyokka ababaka baagwawo ekigwo webagenze ku taka nga omulimu ogwakakolebwawo tegumatiza ku nsimbi ezamuwebwa .