Ebivudde mu musaayi biwemudde ow’emyaka 83 bwe biraze nti, mutabaniwe ow’emyaka 52 eyafudde omwaka oguwedde mu kika gye yamugaba si gye baali bamuzaala.
Nnaalongo Judith Naabalumba 83, ow’e Bulindo – Kira ye yawemuse ebbaga lyonna bw’abadde ategeeza nti, mutabaniwe Patrick Wakiku Mande 52 gwe yagaba mu kika ky’ Engabi ate yamuzaala mu beddira Njovu.
Naabalumba yali mufumbo ewa Lamecha Ssebbaale (omugenzi) yali yeddira Njovu kyokka yabaligira mu ddya n’aganza Festo Ssebanywagi era mu kiseera ekyo we yafunira olubuto n’alugabira Ssebanywagi.
Omwana ng’ali wakati w’emyaka 13 ne 14, nnyina yamugaba mu kika ky’Engabi kyokka Ssebbaale n’asigala ng’amukaayanira ng’agamba nti amufaanana.
Omwaka oguwedde 2022, Wakiku yafiiridde ku myaka 52. Olwamaze okumuziika ab’ekika ky’Engabi ne basitula enkundi nga baagala byabugagga okuli ennyumba z’abapangisa, emmotoka n’ebyapa by’ettaka.
Baatuukiridde Nnamwandu Jackline Nassolo Wakiku ne babimubuuza nga bwe babiwandiika. Kyokka mu kiseera kye kimu n’ab’ekika ky’Enjovu ew’omugenzi Ssebbaale nga balumiriza nti, kitaabwe yafa abagambye nti Wakiku muganda waabwe.
Wakiku mu kufa, nnyina ow’emyaka 83 yasalawo n’ataziikibwa ku ludda lwonna ku babadde bamukaayanira. Embeera bwe yatuuse ku kwagala ebyobugagga Abenjovu ne basalawo nti, kabanunule omusaayi gwabwe kwe kusalawo okukebera abaana bamulekwa ba Wakiku.
Omusaayi baagukebella nga January 30, 2023 mu Government Analytical Laboratory e Wandegeya. Baakebedde omwana wa Wakiku omukulu n’Abenjovu ne baleeta abaabwe okuli; Samuel Ssemakadde, Charles Ssessanga, Godfrey Galabuzi bonna ne bakeberebwa. Byagenze okuggwa ng’omusaayi gwa mulekwa gukwatagana n’Abenjovu olwo Abengabi ne gabeesiba.
Nassolo yategeezezza nti, yagenda okufumbirwa ewa Wakiku yasangayo abaana bana nnyaabwe yanoba bakyali bato ate ye n’azaalayo basatu. Omwana gwe baakebereddeko, Nassolo si yamuzaala.
Abamu ku baana babadde baakwatagana n’abekika ky’Engabi nga bagoba ku bbaluwa ezibawa obuyinza ku mmaali y’omugenzi.
Festo Ssaabanywanyi Muwonge omukulu w’oluggya lw’Abengabi agamba nti talina kituufu kya nkomeredde ky’ayinza kukakasa nti, omugenzi yali waabwe naye ekibuuzo kye beebuuza ng’ekika, bagamba lwaki omukadde Nabalumba teyayogererawo nga n’omugenzi Ssaabanywagi gwe yaddira mu bigere akyaliwo, n’amulinda okufa?