Ebyentambula

Ebizuuse ku basuubuzi 8 abaafiiridde mu kabenje e Mubende

Ebizuuse ku basuubuzi 8 abaafiiridde mu kabenje e Mubende
Abantu munaana (8) kyakakasiddwa nti beebafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Madudu okudda ku luguudo oludda e Mubende okudda e Kakumiro. Abaafudde baabadde batambulira mu loole namba UAY 196T nga baabadde bawera 60 nga bali n’ebyamaguzi byabwe nga bava mu katale.

Wabula loole bwe yatuuse ku nkulungo edda e Mubende nga ovva e Madudu n’eremerera omugoba waayo n’eggwa  n’eyefuula emirundi ebiri paka ku nnyumba ebadde ezimbibwa kumpi ne kukubo. Abantu bana baafiriddewo ate abalala 40 ne baddusibwa mu Ddwaliro ekkulu e Mubende nga bali mumbeera mbi, Obudde bubadde bukya ku lw’okuna abalala bana nabo ne bafa. Abasuubuzi bano baabadde bava mu katale k’omubuulo mu gombolola ye Butoloogo akabeerawo buli lwakusatu era nga baabadde batambudde kiro okudda e Mubende.

Abasawo mu Ddwaliro e Mubende baakoze ekisooboka okutaasa Obulamu bw’abaafunye kabenje newankubadde baabadde bangi ng’ate bo Abasawo batono. Omwogezi wa poliisi mu wamala region Rachael Kawala yagambye nti bakyanoonya ebikwata ku bagenzi nga abaafiiriddewo basobodde okutegerekeka erinnya limu limu nga kunno kwabaddeko: Harriet nga ono yakazibwako erya maama Ebola, Jacinta Katusabe, nakibuuka ne Ssembatya.

Bo abaafunye ebisago era nga bano nabo bali mu mbeera mbi kuliko :Alice ssemakula, Emmanuel kasibante,Richard male, kalebu mubulizi, Francis Baale,Vincent Katumba, Kenneth Wasswa, Specioza musanagowa, Nakyanzi ne Grace Nampijja.

Emotokka eno okufuna akabenje Kigambibwa nti  omugoba waayo yabadde annyweddemu omwenge nga era Abasuubuzi baabadde bamusaba akendeeze sipiidi Naye nga buteerere. Bannamubende bakungubagidde abantu abaafiridde mu kabenje Kano ne basaba emwoyo gyabagenzi omukama agiramuze kissa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top