Amawulire

Ebizuuse ku yabadde ateze Bbomu e Nansana n’abadde abadumira e Nsangi. *Bonna batiddwa n’abalala banonyezebwa *Abasilamu bewozezzako, ebya bbomu tetubimanyi.

Poliisi n’amagye byasazeko ekyalo Katooke ekisangibwa mu monicipaali ye Nansana, oluvuganya lw’okuzuula nti wabaddeyo omutujju eyabadde ne Bbomu gy’ategedde mu nnyumba mwensula era ekidiriide ku badde bwatuka.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga yategezezza abamawulire nti omutujju ono abadde yeyita  Musa Mudasiri, kyokka ng’ebiseera ebimu yeyita Moze, era ng’amaze ebbanga ng’anonyezebwa poliisi era ng’ateberwzebwa okubeera emabega wabatujju abali bagala okutta minista w’ebyentambula Gen.Katumba Wamala.
 Enanga yategeeza nti okukuba  Moze amasasi agamuviiririddeko okufa, yabadde agezako okudduka ku basirikale ba poliisi, wabula abantu bangi naddala ababadde bapangisa kumizigo ne Moze bategezezza SSEKANOLYA,  nga  bwebatakanya na bigambo bya Enanga ebigamba nti Moze yabadde agezako okubaddukako, wabula  ne bategeeza nti abasilikale amasasi bagamukubira munju mwe bamusanga.
Abatuuze bategezezza SSEKANOLYA nti, abasilikale abakuba Moze amasasi agamutta bamussnga mu nju mwe yali assula, era abamu kubatuuze ne batuuka n’okwebuuza  lwaki poliisi yamukubye amasasi nga bamaze okumukwata era ne bebuuza nti awo poliisi ebeera tetta bujulizi n’abantu ababeera bayinza okujituusa badumizi babatujju abali mu Uganda?
Ku lw’okuna lwa wiiki ewedde, SSEKANOLYA yatukiridde omu kuba bapangisa, erinnya lisirikiddwa n’ategeeza nti, Moze abadde emaze emyeezi esatu ng’apangisa ku nnyumba ezo, kyokka ng’ebiseera bye ebisinga abadde atera kudda mubudde bw’ekiro era ng’alina ekibinja kyabavubuka ababadde batera okutambula naye n’okumukyalira.
Ensonda era zategezezza nti ku lwomukaaga lwa wiiki ewedde, abebyokwerinda batuuka ku kyalo ekyo ne basaba abapangisa bonna okweyanjula , kyokka ye Moze teyasamgibwawo. Abapangisa bonna babagyakko amasimu kyokka landi loodi talina namba ya Moze yadde ekiwandiiko kyonna ekimukwatako.
Bino byonna byakolebwa nga seculite emaze ebbanga ng’eketa Moze okutuusa ku Mande bwe bategedde nti yabadde ayagala kwetulisizako bbomu.
Balirwana ba Moze bategezezza SSEKANOLYA nti, kumande nga bbomu zimaze okwabika mu Kampala, omusilikale yagya n’ayimirira mu dirisa lye eryali eriggule n’smusongamu emundu n’amugamba nti tuula, era Oluvannyuma omupoliisi n’amukuba amasasi agamutiddewo.
Abakulembeze ku kyalo kino nga bakulemberwa Maichel Seguya bategezezza nga Moze bwe yababaza nga bamaze okuwandiika abantu bonna ku kitundu ekyo n’alyooka yesenzako.
Mungeri yemu, ku lw’okuna lwa wiiki ewedde Sheikh Muhammad Abbas Kirevu ylabadde omutuuze we Nsangi mu Wakiso yakubiddwa amasasi agamutiddewo oluvannyuma lw’okugezako okulwanagana n’abebyokwerinda  ababadde basindikiddwa okumukwata.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga yategezezza nti Kirevu yabadde akwasaganya era nga yayingiza abavubuka mu kabinja kabayekera aka ADF abatulisa bbomu mu kampala ku lw’okubiri lwa wiiki ewedde ekyavirako abantu 7 okufiira mubulumbaganyi buno.
Enanga era yategezezza nti seculite ekyanonya Sulaiman Nsubuga omutuuze we Kajjansi ku luguudo lw’entebe n’abalala, nga bano be batendeka era nga bebagula n’ebintu ebikozesebwa okutega bbomu ezibwatukira mu gwanga.
Wabula akola nga supreme mufuti sheikh Mahmood Kibaate yategezezza ng’ediini y’obusiramu bwetali mabega w’ettemu erikolebwa, era n’ategeeza nti abo abakola nga basilamu bakola ng’abantu. Ono yasabye gavumenti obutagezako kulaga gwanga nti ettemu likolebwa basilamu, bwatyo n’alabula abasilamu bonna mu gwanga obutenyigira mu bikolwa ebyobutujju.
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top