Minisitule y’ ebyobulamu erabudde bannayuganda okukomya okuziikula ababeera bafudde Ebola oluvannyuma lw’amawulire okufuluma nga bwewaliwo famire eyaziikudde omulambo gw’ Ebola okukakkana nga bonna abakutte.
Minisita w’ ebyobulamu, Jane Ruth Aceng yakoze okulabula kuno bw’abadde alambula ekitundu kya Mubende ne Kassanda ng’ali wamu nab’ Ekitongole ki World Health Organization, ne Ambasada w’ Amerika okulaba embeera bweri.
“Ttiimu ekola ku kuziika, bakola omulimu omulungi naye kulwa bulungi bwansi, tebakikola kuba temusobola naye mulina okutegeera nti ekirwadde kino kikwata mangu nga okukola obulombolombo ku mirambo gijja kwongera okusaasaanya ekirwadde kino,” Minisita Aceng bwe yagambye.
Okulabula kuno, kuddiridde omusiraamu okufa ekirwadde ky’Ebola e Mubende naziikibwa abakugu ba Minisitule y’ebyobulamu naye abafamire nebaguziikula nga bagamba nti tebasoose kugunaaza naguziika mu kitiibwa.
Minisita Aceng agamba nti bano bwebaziikudde omulambo nebaddamu okuguziika kyaleetedde abantu 23 ku kyalo Kalwana e Kikandwa okukwatibwa ekirwadde ky’Ebola nga kati bagoberera abantu 529 ababadde n’abantu bano.
Omukiise w’ekitongole ki United Nations Children’s Fund (UNICEF) mu ggwanga, Dr. Munir Safieldin yasinzidde wano nasaba abantu ba bulijjo babangulwe ku ngeri gyebasobola okuziikamu abantu ababeera bafudde ekirwadde kino.
Ono agamba nti wadde wadde abamu ku bakulu baagala ebyokwerinda byogerweko, ku ntaana kuteekebweko abakuumi naye kino tekisoboka kwesigamwako.
Ebibalo okuva mu Minisitule y’ebyobulamu biraga nti abalina ekiurwadde kino kati bali 129 ate abaakafa bali 27 so nga abakisimattuse bali 43.