Amawulire

Ebola afuuse matonga mu Uganda.

Minisitule y’ebyobulamu erangiridde ng’ekirwadde kya Ebola bwe kirinnyiddwa ku nfeete  mu ggwanga oluvannyuma lw’ennaku 42 nga tewali mulwadde mupya gwe kikutte.

Okulangirira kuno kwakoleddwa ggulo mu kifo kya Mayor’s Garden e Mubende, Ebola gye yasooka okuzuulwa nga September 20, 2022.

Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng n’ategeeza nti abasawo abakugu  omuli n’abali ku ddaala ly’ensi yonna baakakasizza nti kati Ebola lufumo mu Uganda.

Dr. Jane Ruth Aceng.

Yagambye nti omulwadde eyasembayo okujjanjabwa Ebola yasiibulwa nga November 30, 2022, nga kino we kyatuuukira abantu bonna abaali mu kalantiini baali baamalayo dda ennaku 21 nga badda eka

Yagambye nti Ebola yakwata abantu 142, ne kufaako 55 ate 87 ne bawona mu nnaku 69. Ku balwadde kwaliko abaana 26 ate abakulu baali 116 nga disitulikiti y’e Mubende ye yasinga okukosebwa nga yafuna abalwadde  64 n’efiirwa 29 ate Kassanda n’erwaza 49 n’efiirwa 21.  Kampala yalwaza 18 n’efiirwa 2, Kyegegwa 4 omu nafa, Wakiso 3 ne bawona, Jinja 2 omu n’afa, Kagadi omu era n’afa, Masaka 1 n’afa ne Bunyangabu omuntu omu eyajjanjabwa n’awona. Aceng yayongeddeko nti mu bano abasawo 19 be baakwatibwa Ebola ne kufaako musanvu n’ategeeza nti newankubadde obulwadde buweddewo naye baakusigala nga beekenneenya abaawona n’okwekkaanya oba wabaayo abalwadde abapya abayinza okubaawo.

 

Ye Omuwandiisi wenkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Diana Atwine yatenderezza Gavumenti olw’okuzimba obusobozi, bwe baakozesezza okujjanjaba Ebola. Yeebazizza Bannayuganda olw’okukyusa mu nneeyisa, ekyayambye mu kuwangula Ebola n’asiima n’abaserikale olw’okukwasisa ebiragiro.

Ku mukolo guno kwabaddeko abakungu okuva mu bittongole by’ekibibiina ky’amawanga amagatte, ababaka b’amawanga ag’enjawulo, baminisita, ababaka ba Palamenti, abakungu ba Minisitule y’ebyobulamu, abaawonye Ebola, n’abantu abalala bangi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top