Akulira ekitongole ky’ Amakomera mu ggwanga, Johnson Byabashaija ayimirizza mbagirawo abagenyi okukyalira abasibe mu makomera ng’omu ku kaweefube w’okwewala okusaasaanya ekirwadde kya Ebola ekitadde eggwanga ku bunkenke.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa eri abakulira amakomera wonna mu ggwanga agamba nti mukiseera kino okukkiriza abagenyi okukyalira abasibe kibeera kyabulabe nga bwekityo balina okulindako okutuusa ng’ embeera eteredde.
Byabashaija ategeezezza nti abasibe bonna kati bakujanjabirwa mu malwaliro g’amakomera gokka okutuusa ng’ Ebola aweddewo mu ggwanga.
Ono era alagidde abasirikale b’amakomera okubeera nga bambadde masiki obudde bwonna.
Okusinziira ku Byabashaija bagenda kuteekawo ekifo eky’enjawulo, abasirikale n’abasibe abakomawo okuva mu kkooti webalina okusooka okufuuyirwa eddagala eritta akawuka ka Ebola nga tebanakkirizibwa kuyingira munda mu makomera.
Ekiwandiiko ekiriko omukono gw’ omwogezi w’ekitongole kino, Frank Baine, kiraga nti ebiragiro bya Kamisona Genero bitandikiddewo, nga bigendereredde okuziyiza Ebola okusaasaana mu makomera.
Bino webijjidde nga ekitundu kya Masaka kyafunye omuntu asookedde ddala okufa ekirwadde ky’Ebola era abakulu mukitundu kino nebalabula abantu okusigala okulindaala ku kirwadde kino.
Mu kiseera kino aba Minisitule y’ebyobulamu ekyekennenya embeera bweyimiridde, okusalawo ekiddako ku muggalo gwe nnaku 21, President Museveni gweyateeka e Mubende ne Kassanda ewasookera Ebola.