Amawulire

Ebyama lwaki Nadduli aganye bannabyabufuzi okw’ogera ku Duwa ya mutabani we.

Duwa ya Jacana Nadduli ng’ono yali mutabani wa Haji Abdul Nadduli bavuddeyo ng’ennyindo y’enkata oluvannyuma lw’okubagaana okwogera.

Eby’okwerinda byanywezeddwa omwabadde abapoliisi ne bakanyama okulaba nga tewabaawo ffujjo nga eryayolekera mu kuziika Jacana ku kyalo Kaddunda mu ggombolola y’e Kapeeka mu Nakaseke gye baakubira munna NRM Majambere.

Haji Nadduli yeetondedde bannabyabufuzi abazze omuli ababaka ba palamenti n’abalala ababadde beesunze okwogera  olw’obutabawa mukisa kwogera n’agamba nti omukolo yayagadde guweebwe bannadiini bokka n’abasuubiza nti bajja kwecca nga Dec 23 ku mukolo gw’agenda okutegeka mu kifo kye kimu ng’aweza emyaka 80 kuba guno gugenda kubeerako byabufuzi byokka.

“Wadde gavumenti ye yampadde ensimbi okutegeka omukolo guno ng’eyita mu Gen Salim Saleh tekitegeeza nti be balemesezza bannabyabufuzi okwogera wabula ye yabadde enteekateeka yange omukolo gubeereko bya ddiini byokka”, Haji Nadduli bwe yategeezezza.

Omukolo gwetabiddwaako Katikkiro wa Buganda eyawummula, JB Walusimbi nga ono asabye Nadduli obutaggwaamu ssuubi olw’okufiirwa omwana omuto gw’azzenga atendeka eby’obufuzi ng’abadde atandise okuyaayanirwa n’agamba nti Katonda y’asalawo buli kimu.

Agambye nti Nadduli musajja wa byafaayo era yamuyamba nnyo ng’akyali Katikkiro wa Buganda omuli okumuwabula.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top