Poliisi kyongedde ku ssente eri omuntu yenna ayinza okubatuusa ku Lujja Bbosa Tabula, agambibwa okulemberamu ntekateeka zonna ez’okutta Eng. Daniel Bbosa, e Kikandwa mu Rubaga nga 25, Feb, 2024.
Eng. Bbosa eyali omukulu w’ekika ky’Endiga, yakubwa amasasi agamutirawo.
Wiiki ewedde ku Mmande nga 11, March, 2024, abantu 5 batwaliddwa mu kkooti ku misango gy’obutemu omuli
1- Lujja Noah myaka 24, nga mutuuze ku kyalo Kabanga mu Tawuni Kanso y’e Mpigi, eyasimatuka okuttibwa Eng. Bbosa lwe yattibwa.
2- Nakiguli Harriet myaka 40, nga mutuuze mu Nkere Zone, e Kawempe.
3 – Nakabale Joseph myaka 47 nga musiizi wa langi ku kyalo Gala mu Tawuni Kanso y’e Mpigi
4 – Mayanja Ezra, nga mutuuze mu Kiganda Zone e Kawempe
5 – Naluwenda Milly myaka 46 nga muwandiisi mu kkooti ya Kisekwa era mutuuze ku kyalo Kitunzi zone 7 mu Rubaga.
Bonna 5 bali ku limanda okutuusa omwezi ogujja Ogwokuna wabula Poliisi egamba nti wakati mu kunoonya Lujja Bbosa Tabula, ssente zongeddwa okuva ku bukadde 10 okudda ku bukadde 20 eri omuntu yenna, ayinza okubatuusa wa gye yekwese.
Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti bagenda kunoonya Lujja Bbosa Tabula okutuusa ng’akwatiddwa wadde ali mu nsi ki.
Ebya Bbosa bibi ateleddwako obukadde 20.
By
Posted on