Amawulire

Ebya Davido sibirungi.

 

Poliisi etandiise okunoonyereza ku muyimbi munnansi wa Nigeria David Adedeji Adeleke amanyikiddwa nga Davido ku misango gy’okulumba muyimbi munne Tiwa Savage n’okumutisatiisa.

Kigambibwa, Savage okuteeka ekifaananyi kye ng’ali n’omukyala eyali muganzi wa Davido ne bazaala omwana omu ku mitimbagano, y’emu ku nsonga lwaki balina okusika omuguwa.

Mu sitetimenti ku Poliisi, Savage alaga nti Davido alaga nti okuteeka ekifaananyi ky’omukyala ku mitimbagano gwa Instagram, yali agezaako kuvvoola kitiibwa kye n’okumuswaza.

Ku Poliisi, Tiwa Savage agamba nti Davido yasalawo okweyambisa ebigambo ebimuswaza, ebivuma, ebityoboola ekitiibwa kye ssaako n’okumutisatiisa, ekintu ekimenya amateeka.

Agamba nti Davido abadde amusindikira abantu ab’enjawulo mu kibuga Lagos okumutisatiisa nga y’emu ku nsonga lwaki yaddukidde ku Poliisi.

Mu kiseera kino, Poliisi erinze Davido okwanukula ku nsonga ezo.

Omwogezi wa Poliisi mu Lagos, Benjamin Hundeyin agamba nti Poliisi eyingidde mu nsonga ezo, okunoonyereza.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top