Amawulire

Ebya Minisita Kitutu okweyimirirwa ave mu kkomera , bisalwawo leero luno.

Kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi e Kololo leero lw’esalawo ku kusaba kw’okweyimirirwa kwa minisita w’ensonga z’e Karamoja, Maria Gorreti Kitutu.

Kitutu avunaanibwa ku misango egy’okubuzaawo ebintu by’abantu bonnagattako okwekobaana okuzza omusango.

Mwannyina Micheal Naboya naye avunaanibwa gwa kufuna bibbe.

Kigambibwa nti Kitutu wakati wa June 2022 ne January 2023 ku sitoowa za ofiisi ya Katikkiro wa Uganda e Namanve mu distukiti y’e Mukono yaleetera okubulawo kw’amabaati 9000 agaali ag’okuweebwa abantu b’e Karamoja.

Omuwaabi wa gavumenti Josephine Namatovu yategeezezza kkooti y’omulamuzi Joan Aciro nti waliwo ensonga ntono ze bakyanoonyerezaako n’asaba baweebwe obudde bamalirize era n’asaba kkooti eyise ekiragiro ekikaka Joshua Abaho omuwawaabirwa owookubiri okweyanjula mu kkooti.

Kitutu yayita mu bannamateeka be n’asaba ayimbulwe ng’agamba nti alina ekirwadde ekikambwe ekya Puleesa nga yeetaaga abasawo buli kiseera era alina okudda ew’omusawo mu ddwaliro ekkulu e Mulago ayongere okwekebejjebwa kubanga embeera gy’alimu yaabulabe eri obulamu bwe.

Abajja okwemweyimirira kuliko; bba Micheal George Kitutu , eyali omubaka Simon Mulongo , Seth Wambede omubaka wa Mbale City Northern Division ne Dr Joel Wandagwa akola mu ddwaliro e Kiruddu nga mikwano gye era bonna beeyama okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

Omuwaabi wa gavumenti yawakanya okusaba kwe nga yeesigama ku kirayiro kya D/ASP Muhammad Sowed akola ku kunoonyereza ku bawawaabirwa n’agamba nti ensonga za Kitutu zonna temuli makulu kumatiza lwaki yeetaaga okweyimirirwa.

Mu kirayiro kya Sowed yagamba nti mu kunoonyereza okusigaddeyo mulimu okusoya abajulizi ebibuuzo nga bano kuliko n’ab’enganda za Kitutu.

Bano kuliko mulamu we, mukamwana ne Kizibwe we nga n’abamu bakyekwese.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top