Amawulire

Ebya Minister Baryomunsi okuzirikira ku mukolo,gavuumenti ennyonyodde.

Minister w’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi yaddusiddwa kipayoppayo mu ddwaliro ekkulu e Mulago okuva mu district ye Kanungu.

Minister azirikidde ku mukolo gw’okusonda  ensimbi ez’okuzimba ekkanisa.

Akawungeezi k’eggulo minister Chris Baryomunsi embeera bweyatabuse n’azirika okumala akaseera yaddusiddwa mu ddwaliro erya Kambuga mu district ye Kannungu, kyokka oluvannyuma naweerezebwa ennyonyi Namunkanga, eyamuggyeyo n’atwalibwa  mu ddwaliro e Mulago ku Uganda Heart Institute.

Minister omubeezi ow’amawulire n’Okulungamya eggwanga Godfrey Kabyanga ategezezza  CBS, nti embeera eno yavudde kukuba nti Dr Chris Baryomunsi, yabadde atawuse nnyo mu nnaku eziyise, ne kulunaku lwennyini kweyazirikidde yabadde yetabye ku mikolo mingi mu district ekyo kyokka nga tawummula.

Agambye nti kyekyaviiriddeko omubiri okukoowa n’azirika, nti wabula mu kiseera kino minister Baryomunsi akubye ku matu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top