Amawulire

Ebya Owekibanja eyaffiridde mu kaduukulu ka Poliisi ye Matugga bikyalanda

Eby’okuffa kwa John Kisero Sempetwa 45 abadde omutuuze ku kyalo Kavule mu LC ya Mwererwe B ekisangimbwa mu division ye Gombe mu district ye Wakiso ng’ono yaffiridde mu kaduukulu ka poliisi ye Matugga byogedde okulanda ng’abantu basatu bakwatiddwa okuli omugagga era bulooka we ttaaka Godfery Mayende, ssentebe we kyalo Kavule Denis Bulime ne Allen Nanfuka agambibwa okutunda ekibanja ekyaviriddeko Kisero okuffa nga banno mu kiseera kino bakumibwa ku poliisi ye Kawempe.

Okusinzira kunsonda mu poliisi zitegezezza nti Mayende yakwatiddwa akawungeezi keggulo mu kibuga  Kampala gyabadde yekukumye nga bakozeseza okulumika essimu ye omukutukakako ng’ono yeyabayambye okutuuka ku Bulime ne Nanfuka gye babadde bekukumye.

 Oluvanyuma lwa Kisero okuffa abatuuze basalawo okusitula omulambo gwa Kisero bwebagujja mu gwanika e Mulago ne bagusula ku kikomera kya Mayende eyakubira poliisi okuva e Mattugga eyagya negugyawo neguza e Mulago ku lunaku lwa sande ate oluvanyuma gye gwagimbwa ku lunnaku lwa mande nga bayambibwako adumira poliisi mu Kampala n’emirirano Afande Steven Tanui omulambo gwakomezeddwawo ewakka era nga wanno basooka mu lukiiko mu makka ng’omugezi Amos Kibiringe taata wa Kisero olwaliri lukubiribwa RPC Peter Nkulega nga wanno balumiriza poliisi ye Jagala saako ne Matugga okwekobana ne Mayende okubatulugunya era gye bagwira nga OC CID we Matugga Claire Kamukungize ne OC we Jagala Patrick Oboth ne Oc CID we Jagala James Taremwa bakwatiddwa nga mu kiseera kino nabo bakumibwa mu kaduukulu nga bakutwalibwa mu kitongole ekikwasisa empisa ekya Poliisi banoonyerezebweko.

Kisero Ssempetwa John bwabadde afanana

Engeri Kisero gye yatidwamu mu ofiisi ya OC CID Claire.

Okusinzira  omu ku ba famire ategezezza abantu ababadde baze okusika nga Kisero okuffa bwe kyava ku miggo, ebikonde, ensambagere saako n’okutulugunyizibwa okwamanyi kwebamukolako nga kwakulemberwamu omuggaga Mayende ng’ayambibwako kanyama we eyakazibwako elya Malenvu Musiramu wakati mu kukumibwa okwamanya aba poliisi nga bino byonna babikolera mu ofiis ya OC CID n’ekigedererwa oky’okumukaka okuteeka omukono ku kiwandiiko ekyali kikoleddwa nga kilaga nti si mwana wa nyumba eyo era nga bali bamuleese nga mugwira

Ono agenze mu maaso nategezza nti oluvanyuma lw’emiggo okuyitirira ku mugenzi yakiriza nga bwatalina kakwate mu famire ya Kibirige era nga kino kiri ne ku sitementi ye nga kigambibwa nti bino byonna byakolebwa omugagga Mayende ne poliisi okwagala okufuna obujjulizi nti Kisero yali muccuba mu nyumba eyo.

Abakwatibwa ne Kisero bogedde.

Abamu ku bavubuka abakwatibwa ne Kisero nga mu kiseera kino bakumibwa mu komera e Buwembo  bwebaleteddwa ku poliisi e Matugga okukola sitetimenti balumiriza omugagga Mayende ne OC CID Claire okutulugunya Kisero  nga banno bagamba nti oluvanyuma olw’okukuba kiseero ekiseera ekiwanvu saako n’okumutulugunya yazirika era bwe batyo bagyegayirira wakiri bamutwale mu ddwaliro kyokka ne yelema  nga bagamba nti bagala kusooka kulaba ku mulambo.

Banno bagambi nti ng’obudde bukedde kumankya bagezako okumutwala mu ddwaliro e Buwembo kyokka kyazulibwa nti bamutuusa yafudde dda olwo nebatandiika n’okukuta n’omulambo aw’okugusula, era gye bagwera nga bagusudde mu ggwanika mu ddwaliro ekkulu e Mulago.

Waano kigambibwa nti ng’embeera emazze okutabuka poliisi ye Matugga yakubira Mayende essimu okumanya ekiddako nga wanno kigambibwa Mayende naye yakubira Nnfuka essimu nga wanno kwekuaayo enamba ye ssimu y’omu ku bazzukulu b’olugya amanyiddwa nga Kalule gye bawa abasawo be Mulago abamukubira ku sande ku mankya nga bamutegezza ng’omulambo gwa Kisero bwegwali gusuliddwa mu ggwanika.

Kigambibwa mbu abamu ku ba poliisi oluvanyuma lw’okulaba ng’embeera ya Kisero mbi, bakwata obutambi ne babuwereza bakama babwe nga babegayirira omusajja omukuta asobole okugenda okufuna obujjanjjabi wabula abakulu akoba kwerima nga bagamba bagala kulaba mulambo.

Engeri Nanfuka gye yakyusamu ekyapa nakiza mu mannya ge.

Musa Kakembo ng’ono ssentebe wa LC111 e Mudumu nga wa famire eno agamba nti ettaka lino lyali lya Rev Yafesi Kibirige eyaffa mu mwaka gwa 1939 ng’ono yaleeka baana munana, wabula baana omusanvu basalawo okuwa Amos Kibirige kati omugenzi okubeera omusika wa kitabwe kuba mu kiseera ekyo ye yali omuto.

Kakembo agenda mu maaso nategezza  mu mwaka gwa 2017 bananyini ttaaka batuula n’omugenzi Kibirige nebamuwa ekyapa kyokka ebyembi nakiteeka mu mannyage ng’omuntu mu kifo ky’abaana bonna omunaana era kino abekiika tebakifaako nnyo nga tebasubira  kubeerawo buzibu, wabula ebyembi mu mwako gwa 2020 mzeei Kibirige yaffa nga kigambibwa wanno Nanfuka weyafunira omukisa ogw’okubba ekyapa mu nyumba nakwatagana ne Mayende nga wanno Mayende yasaba Nanfuka asooke amusalireko decimal 18 ku kibanja kino amugobere kukukyusa ekyapa nga wanno ne Mayende yeteeka ku kyapa kino era aba famire olwa kitegera nebakitekako envubo.

Wanno kigambibwa nti olutalo we lwatandikira Mayende natandiika okukwata buli muntu eyali abeera ewakka saako n’okutulugunya abampagisa ng’abamu abali balinako obuyumba okwali ebfo ekikanikilwamu emotoka, ebitundu enva z’embizzi byamenyebwa mu kifo nga kimbibwa nti bino byonna byakolebwa ku birangiro bya Mayende nga bwategezza ng’ettakam lino bweyalingula.

Kunsonga ya OC CID Claire ssentebe agamba nti naye omukyala ono yamutulugunyako bwe bali ku kkooti  e Wakiso bweyali agenze okweyimirira abamu ku bantu era bali bakwatiddwa kunsonga ze zimu ng’ono yatuuka n’okukwata emotoka ye era bwayagimusaba namusaba obukadde bunna okugimuwa era ekyamuwaliriza ensonga okuzitwala mu bakama be abamuyambako okumudiza emotoka ye.

Tugenda kuzikulayo omulambo gwa Kibirige, kuba Nanfuka si wa famire.

Aba Famire y’omugenzi Kibirige bategezezza nga bwe bamaze okusaba abasawo saako ne poliisi babakirize bazikule omulambo gw’omugenzi Amos Kibirige agambibwa okuba taata wa Nanfuka bakebere ndaaga buttone okusobola okumanya ekituufu oba ddala yali mwana wa mugenzi kuba kigambibwa nti nyina kati omugenzi yamusiba omugenzi.

 Yafesi Kibirige 1939, 8 kids, 7 produce, Amos Kibirige yali musika kuba yali muto, 2017 amos yateesa ne landlord okufuna ekyapa era Amos ekyapa yakiza mu mannya ge aba famire kyebatasubira nti waliwo obuzibu obuyinza okuvaayo , . Twagala kufuna musaayi okumanyi ekituufu oba mwana wa wakka kuba  twamaze okusaba abasawo abisibwabusibwa .

Oluvanyuma lwa mzeei Kibirige okuffa Nanfuka yateesa ne Mayende mu kusooka amuweeko obutundu 18 akyuse ekyapa era wanno Nanfuka nateeka Mayende ku kyapa era aba famire olwakitegera nebakitekako envubo , era wanno olutalo we lwatandikira nga mayende agamba nti ettaka yalingula ku Nanfuka

Rev. Julius Matovu nga bulira mukuzika Kisero

Rev Julius Matovu abogodde mu kuzika Kisero.

Omusumba w’obusumba bwe Jjungo Rev Julius Matovu nga yakulembeddemu okubulira mu kuzika Kisero ng’ono nakula ne Kisero ayambalidde bakuma ddembe abe’kobana n’abaggaga okutulugunya abantu ku ttaka kino basanye okukimanyi nti ensi tekugulwa nga nabo bajja kuffa ofiisi ezibewanya nabo bazireke.

Rev Matovu agambye nti kyannaku nnyo okulaba nga Kisero yafiridde mu bulumi saako n’okutulugunyizibwa okwamannyi bwatyo nasaba abantu okuvayo bagoberere file eno saako n’okwelwanako, kuba kizuliddwa buli muntu agenzeko okubyogerako akwatibwa saako n’okutulugunyzibwa.

Rev Yafesi Kibirige yazaala abaana munana(8 ) Abalenzi basatu n’abawala bana okuli Seth Buwembo  ng’ono ye taata w’omugenzi John  Kisero Sempetwa , Edith Nambi n’omugenzi Yafesi Kibirige. Abarala kuliko – Amos Kibirige ng’ono yagambibwa okuba taata wa Allen Nanfuka,  Eunike Naggayi, Agnes Nanfuka, Ggayi Wilson, Miriam Nakabuye, Faith Mary Nandukidde, Perth Nakitto.

Ssentebe Bulime Denis  aguddwako emisango essatu okuli Okweyita kyatali nga wandiika okuwandiika ebiwandiiko n’ endagaano ku kyalo kirala, okwekobana okubba eby’obugagga bya famire saako n’okwekobana okutta omuntu. Ate ye Mayende aguddwako ogw’obutemu.

Akati  abantu mukaaga be bakakwatibwa kunsonga eno okuli OC CID we Matugga Claire Kamukungize ne OC we Jagala Patrick Oboth ne Oc CID we Jagala James Taremwa, omugagga Godfery Mayende, Ssentebe Denis Bulime ne Nanfuka wabula nga ne ba bulooka abarala bakyanonyezebwa nga mu kiseera kino balira kunsiko.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top