Omuvubuka Ibrahim Musana abangi gwebamanyi nga Pressure Pressure 24 /7, awungidde mu kkooti, ng’omuwaabi wa Gavumenti Richard Birivumbuka bw’abadde asoma ebyavudde mu kwekeenya ebiwandiiko by’abantu beyaleeta, okumutaasa ekkomera.
Musana yakwatibwa nga 17, February, 2024 ku misango gy’okweyambisa emitimbano omuli Tiktok okuvoola Ssaabasajja Kabaka wa Buganda , Pulezidenti Museveni, sipiika wa Palamenti Anita Among ssaako n’abakulembeze abalala, wakati wa August, 2023 ne February, 2024 mu Kampala.
Mu kkooti enkya ya leero, Birivumbuka agamba nti abantu 2 beyaleeta okumweyimirira ne Musana yennyini, tebalina kifo kyankalakkalira, webayinza kusangibwa.
Nga munnamateeka ku ludda oluwaabi, Birivumbuka asabye kkooti nti bw’eba yakuyimbula Musana, alina okuwa kkooti obukadde 30 ez’obuliwo ssaako n’okuleeta ekyapa ky’ettaka mu mannya ge.
Amangu ddala, omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Ronald Kayizzi, agobye okusaba kwa Musana okweyimirirwa era aziddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 26, March, 2024.
Ebya Pressure 247 okuva mu kkomera biwanvuye.
By
Posted on