Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti , Mathias Mpuuga ayogedde okutabula ebya Muhammad Ssegirinya bwe yeemulugunyizza ku ngeri hye yafuluma eggwanga okugenda okufuna obujjanjbi nga tasoose kufuna lukusa okuva eri Palamenti wadde okumutemyako ng’akulira oludda oluvuganya.
Ssegirinya mu kiseera kino ali mu dwdwaaliro mu Etherlands oluvanyuma lw’okuggyibwa E Germany gye yasookera bwe yava kuno oluvanyuma lw’abasawo ba wano okumuwa amagezi okufuna obujjanjabi obusingako.
Mpuuga mu kiwandiiko kye yafulumizza ku Mmande , yategeezezza nti , okugenda kwa Ssegirinya yakutegedde ku Lwakubiri lwa wiiki ewdde ky’agamba nti tekyamuyisa bulungi.
Yagambye nti bwe yafuna amawulire ago n‘ategeeza pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi n’abakulembenze abalala mu kibiina okulaba nti adduukirirwa.
Yagambye nti bali mu kaweefube w’okulaba nga palamenti ebaako akasente k’emusindikira okufuna obujjajabi nga bwe gulina okuba.
Ssegilinya yasinzidde ku kitanda gy’ali e Netherlands n’ategeeza nti talina nsimbi za kumujjanjaba so nga buli olukya nniiru y’eddwaliro yeeyongera.
Abaffamire baategeezezza nti batandise okusinga ebintu bye omuli emmotoka ye ekika kya Alphard ssaako ettaka.