Amawulire

Ebyafayo by’omugenzi Sserunjogi_Paddy_Sobi.

 

Sserunjogi Paddy ”Sobi” 50 yazalibwa ku ngyegoyego z’ekibuga Kampala  e Kitintale.alina abaana mwenda.Erinya Sobi yaligya ku film eyitibwa ”Escape from Sobibor”mubufunze ye kyeyasalako nti ”Sobi”.Mu buto bwe yayagala nyo okubeera omuntu/Omusajja asinga okuba omukambwe.Erinya lya Sobi yalifuna mu 1990,Mu 1986 agamba yakola looting ku silver spring,yadde yalina emyaka 12,yali muvumu,era okuva obuto yayagala nga nyo emundu,ye gyayita ”Machine”Era yatandiika okukwata ku mundu nga aweza emyaka 10.

Olunaku Sobi lweyasooka olufulumya essasi, bali bagenze kubba mwaanyi za Kasse e Luzira ku portbell,awo yali aweza emyaka 13.Sobi agamba yabba nga nyo mu bus za UTC,ne taxi abasabaze,nga abakaabya akayiriggombe,Abasabaaze yabaleega ngamu e mundu mu biseera ebyo nebamuwa zona zebalina nagenda.

Mu 1992- 1998,yatandiika okuyita emotooka nga bulooka wabasabaze e zigenda Luzira Bugoloobi Coffe,awo ku Burton street stage.Era yakolanga kko nga conductor mu taxi ezo.

Omulundi ggwe yasooka okukwatibwa ggwali mwaka ggwa 1995,Naye nga omusango oggwamukwasa agamba siyeyaguza,Omusango ggwa Illegal possession of firearm.Yamala ku remand Ennaku 480,era oluvanyuma omulamuzi Katologo ku Buganda Rd yeyamusingisa omusango ogwo.Yamusalira emyaka 4,e Luzira mu upper prison.

E Luzira bamukuba transfer nebamutwaala mu makomera agawerako nga Mobuku,Rwimi,Katojjo,Ibuga e Kasese.Aba anateera okumalako obusibe bwe appeal ye gyeyali ataddeyo nekomawo,ng’abuzayo emyezi nga 3 afulume.Era bwatyo yawebwa amagezi appeal agireke.

Sobi bweyamalako obusibe,mu 1999,bweyavayo, yavayo mukambwe muzibu,era olwali okumuta yafunirawo emundu,era bwatyo yatandiika Obubbi obwaddala mu kibuga wakati.Era sente yazifuna nga.

Sobi agamba yatayinza nga ku Forex bureau ne Bank ezenjjawulo.Naye tabbangako bank,wabula yabbako ababbye bank.Mbu Waliwo omubbi omu ggwe bayita Whisper ne bane babbira ku Arua park,era bakolagana ne poliisi,bano beyabbako sente,zebali babbye Obukadde 480,Bweyazitwaala whisper nategeeza poliisi beyakolagana nabo,nti Sobi omunyago agutute.Ebyavaamu era lyali kkomera.

Yakubwako ku masasi mu lubuto ne mutumbwe e Mutukula,agamba Akaseera ako kali kazibu mu bulamu bwe.

Sobi yava mu komera,Mu 2015 agamba amaze amyaka 3 nga tabba,yalokoka,era ayagala bane bona bakifeesi balokoke.Bave mu bubbi.Alina enjogera egamba nti ”Tewali ayinza kugaziya,oba kuyimpaya bulamu bwo nga Mukama tayagadde”Bwatyo ekyo kimuwa amaanyi obutatya.Ebya Sobi biwanvu nyo.Naye mubimpimpi kankome awo.

Kati ye mugenzi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top