Amawulire

Ebyama lwaki mukuma Ddamula wa Buganda asisinkanye abawereddwa obwaami

mukuma ddamula charles peter Mayiga asisinkanye Abaami ba Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II abalondeddwa okukulira amasaza wamu n’eggombolola nabakuutira okubeera abeerufu era batambulire ku misinde nga bakola obuvunaanyizibwa bwabwe olwo Buganda edde ku ntikko.

Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna era bano Katikkiro Mayiga abategeezezza ng’okuviira ddala ku mirembe gya Ssekabaka Kintu enkola y’abantu okufuna obuweereza wamu n’okuwummula bwebaddewo nga mu byonna ekibeera kigendererwa kwe kunyikiza obuweereza bwa Nnyinimu.

” Abaami baweebwa Obwami ate oluusi Abaami bawummula eyo enkola ya bulijjo tekiri ku baami b’amasaza bokka, oba bamagombolola oluusi kibeera neku bakatikkiro. Tewaliwo nnyo kyanjawulo,” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.

Owek. Mayiga agamba nti oluusi abantu basaba okuwummula,abamu bakula, abamu balwala ate abalala nebasobya nga bwekityo okukyusaamu kwesigamizibwa ku nsonga ez’enjawulo.
Mukuumaddamula ategeezezza nti mu byonna beebaza abawummudde obuweereza buno kuba balina ettofaali ddene lyebagasse ku lugendo lwa Buganda okudda ku ntikko.

Ono asuubizza Abaami abaggya enkolagana ennungi basobole okutuukiriza enteekateeka za Buganda ez’enjawulo.

Ye Minisita wa gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka nensonga za Buganda ebweru, Owek. Joseph Kawuki yeebazizza Beene olw’okusiima naalonda Abaami ku mitendera egyenjawulo bwatyo neyeyama okwongera amaanyi mubuwereza.

Oweek Kawuki era ayaniriza Abaami ba Ssaabasajja abapya mubuwereza naabasaba okwongera amaanyi mubuwereza nga bannyikira munsonga za Buganda ssemasonga ettano nokukolera mu nkola eza Buganda Kuntiko.

Minisita Kawuki agamba nti okuza Buganda kuntiko kutandikira ku Ssaza, ng’essaza bwelida kuntiko, olwo ne Buganda eyawamu eba ezze mu kiffo kyayo.

Ono ategeezezza nga Abaami bwe bawereddwa ebyetaagisa okukola egyabwe omuli ebiwandiiko eby’enkizo ebbaluwa ezikakasa okuweebwa Obwami ssaako nokusomesebwa ku neeyisa y’omwami etwala Buganda ku ntiko

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top