Hajji Bulaim Muwanga Kibirige 67, eyakazibwaako elya BMK abadde omugagga wa wooteri ya Africana esangibwa mu Kampala afudde n’ebyewunyisa ebitiiisa ne nkulakulana gyakoze mu mawanga okuli Kenya ,Uganda, Canada , ne Zambia n’amawanga amalala gyalese amasomero , wooteri n’ebizimbe ebitemya nga omuntu.
Haji Muwanga Kibirige yeyasooka okusubula ssente mu myaka 1970 kyokka nawanganguka mu 1980 mu ggwanga lya Kenya olw’okwekengera gavumenti zabakulembeze okuli Idi Amin abaali bagala okumutuusaako obuzibu kyokka nti wayita ekiseta nakomawo e Uganda n’amanyi nayongera okutambuza omukululo gw’obusuubuzi
Abasawo ku ddwaliro lya Aghakan ababadde bamujanajaba kokolo wa basajja baamulagula okufa mu mwaka 2013 oluvannyuma lw’okuzuula nti ekirwadde kya Kokolo kyaali kyamusensera dda kyoka okuva abasawo webamulagula.
Yeyasooka okuleeta boda boda ekika kya Mate mu Uganda yensonga lwaki babadde bamukazaako lya Jjajja wa boda boda .
Abasuubuzi nga bakulembeddwa Musoke Thadeus ssente wa KACITA bamwogeddeko nga omuntu abadde ow’e kisa ennyo era bangi abakutteko nebayitimuka mu busuubuzi
Afudde anoonya ttaka eddala eddene webagenda okwongera okuziika abasiraamu kubanga etaka ly’e Nkoowe lyeyagula gyebaziika kati abasiiramu naye gyeyazikiddwa libadde ligenze lijjula.
Yatandika obusuubuzi nga wamyaka 15 nga yasokera mu kutunda byuuma ebikadde nga ayambibwako kitaawe omugenzi Haji Ali Kibirige.
Gyeyazikiddwa ku ttaka ly’enkoowe yeyaguka yiika 15 gyeyazika abantu abawerako okuli omwana we , ne maama we.
Yazalibwa ku kyalo Makanga ekisangibwa eMasaka nga eno gyebaziika kitawe Haji Ali Kibirige kyokka ye yalaama ku muziika Nkoowe era gyeyazikiddwa
Yawebwa ekitiibwa kya Doctor olw’ebintu byazze akola nga yasooka kusuubula mwanyi , n’okugula ebigaali ebitika ebyamaguzi ng’abipangisa abantu ku ssente emu awo weyava natandika okusuubula ennyama eyamufuula omusuubuzi owa manyi nayitimuka okutuusa wafudde.
Mu kampuni zalese abadalde akozesa abasoba mu 600. Alese amaka gamirundi esatu agatemya nga omuntu mu bitundu okuli Kibuli, Muyenga ne Naguru awakumiddwa olumbe.
BMK abadde musajja akiririzza mu ddogo era azze awulirwako nti eddogo gyelili era likolera dda bangi balifunnyemu obugagga kyokka abadde talambulula nti naye abadde alikozesa nasobola okunoga ssente n’okufuna emikisa egimusobozesezza okutambuza bizinensi ze nayoola obugagga bwabadde nabwo .
Omugenzi abadde takiriziganya n’abantu aberaga abamansamansa ssente nti kino kiraga bukopi era nti abasinga okukikola babeera bavu nnyo lwa kweraga.
BMK abadde musajja wa kabaka era azze alabibwako nga yetaba ku mikola gya Buganda nga yiwamu ensimbi okusobola okuzza Buganda ku ntikko.
Abasiraamu nga bakulembeddwa Sheik Ramandhan Mugalu sabawandiisi w’obusiramu agambye nti BMK abadde mulwanirizi wa busiraamu kubanga abadde atabaganya ebiwayi by’obusiraamu ebibadde mu ntalo.
Abagagga banne nga bakulembeddwa Godfrey Kirumira bagambye nti bamuyigiddeko nnyo kubanga yeyabatandikirawo omukululo gw’obusuubuzi mu ggwanga nabo mwebafudde buli kamu kebalina ku nsi.