Amawulire

EBYEWUNYISA KU NTAANA.

Edda ennyo omuntu bweyafanga yalekebwanga munnyumba  abalamu nebasenguka nga badduka olumbe olwabanga lusse oli.

Naye lumu wajja omugenyi ku kyalo ekimu newagenda wabaawo omutaka eyafa,  abantu baali bateekateeka okusenguka, omugenyi  nabagamba nti temusenguka nze nina “ekiggya” (ng’ategeeza enkola empya) bwatyo nabagamba nti naye njagala ENTE ANA (40)

Bwebatyo baasonda  “ente ana” ne bazimuwa bwatyo nabawa amagezi ag’okusima ekinnya baziikemu omutaka eyali afudde. Ekyalo kyasanyuka kubanga baali bafunnye ekintu ekiggya n’okuwona okusengukanga.

Okuva olwo awaziikibwa omutaka batuumawo “EKIGGYA.” Era okuva olwo buli eyafanga baalinanga okusonda Ente Ana nebaziwa abasimi era ekinnya ne kiyitibwa “ENTAANA” kubanga kyatwalanga Ente Ana okukisima.

Omusajja oyo yali MULAALO era ekintu kyeyakola abatuuze bakyogerangako nga bagamba nti ago magezi malaalo wewava ekigambo “AMALAALO”

Amagezi muliro

NE sebalu Ibrahim jo mu nakizima

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top