Ssenga

Eby’okudaaza ennyo omusajja okumuwaako bikyalina amakulu?

Eby’okudaaza ennyo omusajja okumuwaako bikyalina amakulu?

Laavu nayo egenze ekyusa amaaso ng’enswa era waliwo ebintu ebimu abakwana n’akwanibwa omulembe guno bye balina okukyusaamu. Gyebuvuddeko ng’omukazi gwe bagamba nti alimu ensa omusajja alina kumpi mukwanira mwaka mulamba oba n’okusingawo alyoke amukombye.

Era kino ng’abasajja balinga bakyewanyisa nti “maama Kiberu yantambuza emyezi mwenda”

Naye era ebiseera ddala byebyo kubanga n’abasinga balinga abakazi babalabira balabire.

Ng’olina okusooka okumusisinkana okusooka oba wa ssenga we oba wa mugandawe ate olwo mutandike okwogera.

Oluusi wasambye kagaali buno maanyi ga kifuba mailo nga 20 sseddume ogende olabe omukazi.

Abalala zaabanga bbaluwa n’emala emyezi esatu mu posita ate naye agiddemu.

Kati omukazi bwaliwooza nti ajja kuddamu adaaze omusajja ekiseera ekiwanvu ayinza okuviiramu awo.

Amulindiseno nga tamubeeba ssente na byetaago ng’abedda.

Abaaluno akusaba ssente ne kalonda omulala kyokka ng’awoza akyakwetegereza ng’ani abbibwa engeri eyo.

Bw’oba oyagala kwetegereza n’eby’omusabasaba ssente bireke.

Gano amasimu agajja abaana beesiima ne beewereza n’ebifanaanyi by’obwengula ng’ogamba nti oli anatunulako n’atatabuka kwagala kumuwa kwolwo akawungeezi.

Ye odaaza munno nga ku kyalo oba ku Akeedi wakukwanira oliwo wekka?

Oyinza okuba okyalumya omusajja ate n’alengerayo embooko endala olwo ng’ebibyo bikomye.

Jjukira nti ne banneekoleragyange abategeeramu n’afuuka oba amawooteeri oba ebifo ebisanyukirwamu ate nga vayimiridde bangi okuleka buno bumalaaya obwagubasiira Bukinakukka.

Ebyo byonna abaagalana bye balina okumanya ku mulembe guno balumye nga balekamu.

Okupakuka enyo okwegaba oyinza okutiisa omusajja kyokka n’okulumya ennyo oyinza okufiirwa n’olwekyo weepimire okusinziira ku bw’olaba embeera.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top