Amawulire

Eby’okutta Bbosa biranze 7 bakwatiddwa.

Katti bawezze musanvu abakwatiddwa ku byekussa kukuttibwa kwabadde omukulu wekika ky’ endiga wiiki ewedde
Bbosa akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande nga 25, February, 2024.
Eng. Bbosa yattiddwa mu kiseera ng’akola nga omutaka Lwomwa, omukulu w’ekika ky’Endiga.
Omubuze Lwomwa Daniel Bbosa yaterekeddwa ku butaka bwa bajjajabe e Mbale mu Mawokota, akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande nga 3 March, 2024.
Okuva wiiki ewedde, abakulembeze mu Buganda, balemeddeko okusaba Poliisi okunoonyereza lwaki yattiddwa n’okuzuula abatemu bonna abaali mu ttemu eryo.
Okusinzira ku Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Poliisi erina abantu 7 omuli ne Lujja Noah ali mu ddwaaliro.
Enanga agamba nti wiiki ewedde, Poliisi yakwata Milly Naluwenda owa kkooti ya Kisekwa.
Okunoonyereza kulaga nti abakwate bali mu lukwe lw’okupaanga engeri y’okutta Eng. Bbosa, okupangisa abatemu ssaako n’emmundu.
Enanga agamba nti mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, waliyo abasirikale 4 abakuuma Lujja, okumutangira okudduka.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top