Eby’okwerinda byongedde okunywezebwa mu katale ka St Balikuddembe akamanyiddwa nga Owino, olw’abakakulira okuteekamu ebitaala ebigenda okuyamba okuziyiza abamenyi b’amateeka abeesomye okusaanyawo emmaali y’abasuubuzi n’akatale.
Kino kidiridde ebitaala ne kkamera za CCTV okutandika okuteekebwa mu katale kano nga kampuni ya AKVO international yekulembeddemu omulimu guno. Ebitaala ne kkamera bigenda kuteekebwa mu buli nsonda ya katale okumalawo abalabe abaagala okutuusa obulabe ku basuubuzi.
Kushaba Suzan ssentebe wa katale kano bwabadde akwasibwa ebitaala bino agambye nti kino kikyali kituuza bino byebimu ku bintu byabadde alwanirira mu Owino kubanga obukulembeze obubaddeko bwalemererwa okuteekawo obukuumu obumala mu katale ate ne bumerusa abayaaye ababadde batigomya abasuubuzi naye mu bukulembezebwe, obumenyi bwa mateeka bugenda kukoma y’ensonga lwaki kati atandise okutekamu ebintu ebigenda okuyambako ku bukuumi, okutangira abagala okusaanyawo akatale . Ayongeddeko nti ayagala buli musuubuzi akolera mu kifo ng’ali mu ddembe.
Abasuubuzi okuli Emmanuel Kasule bagambye nti obumenyi bw’amateeka bubadde busukkiride ku mulembe gwa Godfrey Kayongo kyokka nga talina kyakolawo naye kati batandise okufuna essuubi nti obumenyi bw’amateeka bugenda kukoma olw’enteekateeka eno ey’ebitaala ne kkamera.
Betty Nakabuubi agambye nti abamenyi b’amateeka babadde bakozesa omukisa gw’ekikizza ne balumba emidaala gy’abasuubuzi ne banyagulula ebintu bya basuubuzi ekibazizza emabega kubanga emaali esiinga bajiggya mu looni, nga okubabba kiba kibazza mabega kati olw’ebitaala ne n’obukuumi, obubbi bugenda kukoma.
Bino webijjidde nga waliwo olutalo wakati w’abaaliko abakulembeze mu akatale nga bawakanya obukulembeze bwa Kushaba nti buliwo mu bukyamu nti ettaka lyabwe era balina okulyeddiza ne bwebuliba ddi, ekintu aba Kushaba kye bagamba nti bo baliwo ku kilragiro kya pulezidenti Museveni kyeyalagira ababadde mu bukulembeze bwa katale okuvaawo, abasuubuzi beerondere obukulembeze obupya.