Amawulire

Eby’omugole eyayiye omukolo bikyukidde nnyina , Muwalawe amukolamu ssente – Bbako.

EBYAFFE TUBYAGALA : Abafamire y’omuvubuka eyasooka okukyala mu bazadde b’omugole eyayiye omukolo ng’ebula ennaku bbiri zokka erumirizza nnyina w’omuwala okulya ebintu byabwe ate n’amala n’bajeega nga bwe bali abayaaye, olwo omuwala n’ayagala okumufumbiza omusajja omulala.

Bano nga bakulembeddwamu Adadi Kiguli ng’ono taata wa Sulaiman Male omuto, mukulu we Abdul Salaam Sulaiman Ssemanda ne mukwano gwe  Siraje Nsubuga baasizidde Katwe  mu Kampala ne bakakkulumira bazadde ba Bushirah Najuuko olw’okubalengezza n’okubalaga nti tebasaanidde kuwasa muwala waabwe ,so nga baabakkiriza okukyala era ne babatwalira n’ebintu ne babirya.

Kino kiddiridde omuwala Bushirah Najjuuko okubula nga wabulayo ennaku bbiri omukolo gw’okwanjula gubeewo.

Omukolo gwabadde gutegekeddwa Katereke- Nsangi nga Najjuuko yabadde wa kwanjula Farouk Mugalu,omutuuze w’e Mpereerwe mu Kizingiza zooni.

Najjuuko yabula Lwakutano bwe yali agenze mu saluuni okumukolako , era abazadde bwe baamulinda nga tebamulaba kwe kuggulawo omusango ku poliisi e Nsangi.

Ku Lwokubiri ,Najjuuko  yeetutte ku poliisi n’annyonnyola nti abadde wa makwano gwe Zainah e Makindye nga  n’ekyamukoza ekyo bwe butayagala kufumbirwa Mugalu , bazadde be gwe baali baagala afumbirwe.

Maama wa Najjuuko ,Aisha Nalukenge yategeezeza nti muwala , alina omusajja gwe yasooka okubaleetera wabula nga muyaaye ,yajja asibye  enviiri era nga n’empale azisibye bbalaansi ekitabasanyusa.

Yagaseeko nti ng’ovudde ku ky’edabika ey’ekiyaaye,ate n’ebintu bye baabasaba byabalema okuwaayo , ekyalaga nti omukyala baali tebajja kusobola kumulabirira .

Wabula bino aba ffamire ya Male baabisambazze .

Ssemanda yategezezza nti enteekateeka zonna ezakulembera omukolo gw’okukyalamu bakadde ba Najjuuko yazirimu.

Yagabye nti omukolo gwaliwo ng’ekisiibo ky’omwaka oguwedde kinaatera okutandika.

Twasooka kuwandika bbaluwa esaba okukyala  ne batukkiriza ne tukyala .

Embintu bye twatwala mwalimu ssukaali,omuceere,ssabbuuni,omunnyo ,emigaati ne kalonda omulala.

Yagambye nti , taata yasaba omutwalo gwa nte enzungu ebalirirwamu obukadde 6, ate maama n’asaba kabada ennene,firiigi ennene,ttanka ta’mazzi n’ebintu ebirala, kyoka bwe baasaba okubakendeerezaako ne bagaana.

Babadde baali munteekateeka za kuddayo oluvanyuma lw’okufuna ebintu ebyabasalirwa ate baagenze okuwulira nti Najjuuko  baagala kumufumbizza masajja mulala.

Ssemanda era alumiriza omusajja eyabadde agenda okuwasa Najjuuko okukubiranga Male amasimu agamutiisatiisa n’okumwegayirira bateese, omukazi amumulekere omukolo gusobole okugenda mu maaso.

Farouk Mugalu abyeganye.

Farouk Mugalu abazadde gwe babadde baagala atwale muwala waabwe yeeganye ebyogerwa  abaffamire ya Male nti abadde amukubira amasimu ng’amutiisatiisa era ng’ayala bateese omukolo gwe gusobole okubawo.

Ono oluvanyuma lwa Najjuko okuvaayo ne yeetwala ku poliisi ku Lwokubiri yategeezzeza nti agenda kwogerezeganya naye nebakadde be era bwe  banakkanya waakugenda  mu maaso n’omukolo ,kubanga mweteggefu okuwasa omuwala.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top