Amawulire

Ekibinja ky’abasiraamu ekisooka ekyabagenda e Mecca kisimbudde

Ekibinja  ky’abasiraamu abagenda okulamaga e Mecca ekisooka kisiibuddwa ku kitebe kya Saudi Arabia mu Uganda.

Ambassador wa Saudi Arabia mu Uganda H.E Jamal M. Al Madani y’akulembeddemu omukolo gw’okusibula ku kitebe kya Saudi Arabia ng’ali wamu n’ekitongole kya Weli Travel.

Akuutidde abalamazi okugoberera obukwakkulizo bwonna obwateereddwawo mu kulamaga baleme kufuniramu buzibu mu kiseera kye banaamala e Saudi Arabia.

Ayongedde n’asaba abalamazi okugoberera amateeka agaatekebwawo okutangira okusasaana kw’ekirwadde kya Corona kiyambe okutangira okusasaana kw’akawuka.

Akkaatirizza nti abalamazi abagenda okukkirizibwa bebokka abatasussa myaka 65. Yagambye nti kino kyakoleddwa okusinziira ku biragiro by’ebyobulamu okuva mu Saudi Arabia.

Madani agambye nti Uganda yaweereddwa omuwendo gw’abalamzi 4000 ku balamazi akakadde akamu okuva munsi yonna. Ekibinja ekyaasoose kyabaddemu abalamazi 200.

Oluvannyuma yakwasizza abalamazi kulaani ng’akabonero akabagaliza okutambula obulungi mulugendo lwabwe olw’okulamaga.

Ye Shafik Ssenteza omwogezi wa Weli Travel ategeezezza nti abalamazi abaasimbuddwa bagenda kubeera e Saudi Arabia okutuusa nga July 18 omwaka guno.

Agambye nti abalamazi abatwaliddwa Weli Travel basasudde doola 6900 nga zino ssente zakubayamba mu kiseera kyebagenda okubeera mu Saudi Arabia.

Okulamaga kubadde kumaze emyaka 2 nga kwayimirizibwa oluvannyuma lw’omuggalo ogwaatekebwawo kunsi olw’ekirwadde kya Corona.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top