Edda ennyo omuntu bweyafanga yalekebwanga munyumba abalamu nebasenguka nga badduka olumbe olwabanga lusse oli. Naye lumu wagya omugenyi ku kyaalo ekimu newagenda wabaawo omutaka eyafa, kati abantu baali bateekateeka okusenguka, omugenyi nabagamba nti temusenguka nze nina ekiggya (nga ategeeza enkola empya) bwatyo nabagamba nti naye njagala ENTE ANA.
Bwebatyo basonda “ente ana” ne bazimuwa bwatyo nabawa amagezi ag’okusima ekinnya baziikemu omuntaka eyali afudde. Ekyaalo kyasanyuka olwokubanga baali bafunnye ekintu ekiggya n’okuwona okusengukanga.
Okuva olwo awaazikibwa omutaka batuumawo ekiggya. Era okuva olwo buli eyafanga baalinanga okusonda Ente Ana nebaziwa abasimi era ekinnya kye kyaava kiyitibwa “ENTAANA” kubanga kyatwaalanga ente Ana okukisima.
Omusajja oyo yali mulalo era ekintu kyeyakola abatuuze bakyogerangako nga bagamba nti ago magezi malaalo wewava ekigambo amalaalo.Allah abawe omukisa.
TUKUUME OLULIMI LYAFFE