Amawulire

Ekikomera kigudde ne kitta abantu 5.

EKIKOKOMERA ekikomera kigudde ne kitta abantu 5. ekyagudde mu kiro ekyakeesezza Mmande ne kitta abantu abataano kigambibwa nti kibadde kijjudde enjatika era abatuuze babadde bamaze emyaka ebiri nga balaajanira omugagga akitereeze kyokka ne yeerema.

Abaafudde kuliko; Phiona Nabulumba azaalibwa e Tongolo mu Buikwe, Fuuku Moja, Godfrey Nabunywa akola obuserikale mu kitongole ky’obwannannyini ekya SGS, omwana ow’emyaka esatu Liana n’omuwala eyategeerekese nga Doreen.

Abalala abaakoseddwa kuliko: Isma Sserugunda ssaako mukyala we, Gladys Mukisa eyatwaliddwa ng’ataawa n’omutuuze omulala eyategeerekeseeko erya Sadat.

Bino byabadde mu Kanyanya zooni e Ndejje mu Ggombolola ya Makindye

Ssaabagabo, nga ekikomera kino kibadde kya ssundiro ly’amafuta erya Good Luck Oil nga kigambibwa nti lya Rose Nakafeero.

Ennyumba ezaagwiriddwa ekikomera zaabadde za mizigo munaana nga ku ggyo, omukaaga gye gyabaddemu abantu nga beebase ate ebiri gyabadde mikalu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top