Olukiiko oluteekateeka ekikopo kya Masaza lutuuse awengedde werumaze okukola enteekateeka ey’ekikopo kino sizoni eno. Minisita ow’ebyemizannyo mu Buganda Owekitiibwa Henry Moses Ssekabembe wamu n’olukiiko olukulemberwa Hajji Sulaiman Ssejjengo basinzidde ku Bulange wiiki ewedde nebakakasa nti empaka ‘omwaka guno zakuddukanyizibwa nga ez’omwaka oguwedde ku kisaawe kya Njeru Technical Center.
Era nga buli kibinja kyakusamba emipiira gyakyo olwo kiryoke kiwummule. Abasambi baakukeberebwa Covid 19 nga tebanesogga nkambi wabula nga kuluno abawagizi abagemeddwa olwekirwadde kya Covid 19, baakukirizibwa okulaba emipiira gino. Ebibinja byamaze dda okukwatibwa:
Masengere Muganzirwaza Bulange Butikiro
Gomba Buddu Busiro Bulemeezi
Kyadondo Busujju Bugerere Kooki
Buluuli Mawogola Kyaggwe Mawokota
Ssingo Buwekula Buvuma Ssese
Kabula Butambala
Gomba bebawanguzi b’ekikopo kino sizoni ewedde nga baakuba Buddu ggoolo 3-1.