Amawulire

Ekisaakaate kya Nnaabagereka 2024 kitandise mubutongole.

 

Ekisaakaate kya Nnaabagereka ekya 2024 kitandise ku  ssomero lya Hormisdallen School e Gayaza gye bagenda okubangulibwa mu bintu ebyenjawulo.

Ekisaakaate kigenda kumala  ebbanga lya wiiki 2 n’ennaku 4.

Ekisaakaate Gatonnya eky’omulundi guno kitambulira kumulamwa ogugamba nti Okulafuubanira obuntubulamu.

Abasaakaate bonna bakungaanidde ku Bulange e Mengo, era webasinzidde neboolekera Hormisdallen  school e Gayaza.

Kitandise leero nga 04 okutuuka nga 20 January 2024.

Ssaabagunjuzi w’e Kisakate Kya  Nabagereka  era akiikirira abavubuka ba Nkobazambogo mu Lukiiko lwa Buganda olukulu Owek Rashid Lukwago, agambye nti bagenda kubangulibwa mu miru egyenjawulo egizimba obwongo bwabwe, n’okubateekateeka okubeera abantu ab’obuvunaanyizibwa.

Ssenkulu wa Nnaabagereka Development Foundation abateeseteese ekisaakaate Andrian Mukiibi ategezezza nti ku mulundi guno baasazewo okukkiriza abaana abalina emyaka 20 okugenda mu kisaakaate,  olwe kirwadde Kya COVID 19 ekyalumba eggwanga abaana nebatafuna mukisa kwetaba mu kisaakaate okumala emyaka 2.

Ekisaakaate emyaka egiyise kibadde kyetebamu abaana abawala n’abalenzi abali wakati w’emyaka 6 – 18, wabula ku mulundi guno bakomye ku myaka 20.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top