Amawulire

Ekitongole kya UNEB kikakasizza abasomesa 14000 abagenda okugolola ebibuuzo by’akamalirizo.

 

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibuuzo mu ggwanga ki Uganda National  Examinations Board kikakasizza abantu 14,000 abagenda okukiyambako okugolola ebigezo by’a bayizi ba P.7,S.4 ne S.6.

Ebifo 33 abagolola ebibuuzo bino mwebagenda okukungaanira okukola omulimu. Ebifo 13 byakugololeramu ebya PLE, songa n’ebifo 20 bagekugololeramu ebya S.4 ne S. 6.

Omwogezi wa UNEB Jeniffer Kalule asinzidde mulukungaana lwa banamawulire ku kitebe kya police e Nagguru nategezeza nti batandise okwekeneenya abagenda okugolola ebibuuzo bino.

Jeniffer agambye nti basuubira wiiki eyokusatu mu mwezi ogwa January omwaka ogujja 2024, okuba ng’ebibuuzo by’abayizi ba Primary bifulumiziddwa, olwo ebirala bigoberere ng’enteekateeka bwenaaba ekoleddwa.

Mungeri yemu agambye nti bakwataganye ne police n’ebitongole ebinoonyereza n’okuzuula abantu abatambuza amawulire ag’obulimba nti UNEB erina enteekateeka z’okuyita abayizi ba senior 4 okuddamu ekigeezo ky’essomo lya physics.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top