Amawulire

Ekitongole ky’ennyonyi mugwanga kiraze wekituuse ku nkola y’emirimu

Ekitongole ky’ennyonyi mugwanga kiraze wekituuse ku nkola y’emirimu.

Ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku ntambula ze’nnyonyi mu gwanga balaze nga omuwendo gwe ebyamaguzi ebitambuzibwa okuyingira n’okufuluma nga biyita ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe bwe gweyongede oluvannyuma lw’eggwanga okuva ku muggalo gwali guziŋŋamizza eby’entambula z’ennyonyi.

Okusinziira ku mwogezi w’ekitongole kino Vianney Luggya agamba nti omwezi gwo omusavu we gugwereddeko nga ebyamaguzi ebiweza obuzito bwa 5,871 nga muno mulimu ebyamaguzi obuzito 2491 ebya yingira ate obuzito 3380 bye bya fuluma nga biyita ku kisaawe Entebbe okusinga kw’ebyo ebya yitirako emyezi egiiyise nadala omwezi gwo 6 bwali obuzito 5148, ate ogwokutaano bwali 5725.

Ono ayongerako nti embeera y’omuggalo yabakosa nnyo kubanga eggwanga lyagenda okugenda ku muggalo nga omuwendo gwe eby’amaguzi ebifuluma guli waggulu nadala omuwezi gwokuna n’ogwokusatu obuzito bwali 5725 ku 5977.

Vianney yategeezezza ab’olupapula lwa ssekanolya nti omuwendo gw’abasaabaze abakozesa ekisaawe ky’e Entebbe nagwo gwa kendeeramu olwe ekirwadde kya covid 19 okweyongera mu ggwanga, nga abasaabaze okuva ebweru we eggwanga baali 61,328 nga kubano abasaabaze 23,594 beebayingira nga ku kisaawe ate 29,137 beebafulama ate 8,597 beebaali ku nnyonyi nga batambula omwezi gwomusanvu omwaka guno okusinga kwabo75,472, 77,063 85,054 abakikozesa mu mwezi gwo omukaaga, ogwokutaano n’ogwokuna. Ate abasaabaze abakozesa ekisaawe mu gwomusanvu omwaka guno buli lunaku baali 1,978 okusinga kwabo 5,412 abaali bakikozesa nga omugalo tegunabeerawo.

Vianney agamba nti newankubadde baali baddiridemu mu kiseera ky’omuggalo, baalina essuubi nti ekisaawe kyakuddamu okufuna embavu oluvannyuma lw’omuggalo okuddirizibwa nga kati abantu bazzeemu okutambula nga bakozesa ennyonyi saako nokukola eby’ensubulagana nga bakozesa ennyonyi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top