MAKINDYE
EBYOMUYIMBI omwatikirivu era eyali kafulu mu kuyimba enyimba za laavu nezikwana omugave Mesach Ssemakula okuva mu Golden Band birimu eddogo wadde nga wano kungulu abanene mu bandi eyo bakitadde ku bulwadde n’okukula mu myaka nti balina okuwummulako.
Ssemakula wiiki ewedde ngayita mu balooya be aba Lukwago And Company Advocates yazindukiriza banne mu kibiina kino ekyava mu Eaagles Production bwe yali ewagukamu nabategeeza nbti alekulidde ebyokuyimbira mu kkampuni.
Yagambye nti embeera y’obulamu bwe sinungi naddala amagulu agamuluma enyo ennaku zino nga nooluusi okuyimirira ebbanga epanvu kibeera kimukalubirira.
Yagambye nti waliwo nensonga ez’ebyenfuna nti bandi yazigama olw’ensonga za Covid 19 eyaleeta omuggalo n’ebizibu ebirala nga ne gye buvuddeko omugagga wa Hotel Calender bandi gyebadde epangisa ofiisi yabowa ebyuma lwa bukadde 12 bwokka.
Wadde omugagga yategeeza ba dayirekita bonna okuva ku Hajji Kavuma K.T, Catherine Kusasira ,Fred Sseruga, Mayinja Ronald n’abalala tewali yeenyenya okutuusa Ssemakula lwe yalaba nga aswala nazisasla ea ebyuma yabadde abirina.
Kyokka yagambye nti olw’okuba agenda mu mutima mulungi banne abawulira nti bakyayagala okuyimba baddembe okubikima nga tebamuwadde wadde omunwe gwennusu abasonyiye.
“Ekibiina nkitadde mu mirembve kangende mpumule nsigala kuyimba nze lwenjagadde ngantukiriddwa na ku mikolo oba newalala wonna sikyasobola bya kkampuni eyinza okutambuza omwezi nga tozze na wakawo” Ssemakula bwe yategeezezza.
Kyokka abamanyi ebyomunda bategeezezza nti ekisanyizaawo bandi kubanga kti kyenkana yasanyewo okuva Ssemakula lwe yagitadde nga nga Kusasira yayabika okuva lwe yagenda mu bobufuzi ne bba Sseruga yaddayo kusoma mateeka takyalina budde ne bannabwe abalala bwebatyo nti ddogo.
Kigambibwa nga Eagles tenayabulukuka, Hon Geofrey Lutaaya kutandikao Da New Eagles n e mukazi we Irene Namatovu waliwo goziriini mu kibiina olw’entalo za ssente gattako abayimbi abalala abataali ba Eagles abali babakwatirwa fitina.
Ku bano kwaliko omusajja omukulu ow’ekikofiira n’omulala owamajiini eyal ayimba enyo nga tanywa njaga aleluka bano abasindika ebitambo n’emizimu mu kibiina ne kigwamu nabbe.
Eddogo lino abajukira lyatandika n a ttalo eali litta Ssemakula ebiseera ebyo era obula dde bwe obwamagulu obwamulsezaawo kkampuni awo webwatandikira.
Wakati “mu bannnge bandoga” emirembe gya ssene egyasinga okuva ku kugabana ennaku ne kiggudde waani wejatandiira okukakana nga Lutaaya asibyemu enbyanguwa.
Waliwo abalowooza nti wadde embeera mbi naye waliwo ekyasimbibwa mu bandi en o ng’ekyali wamu ekizze kigitawaanya okutuusa lwesanyawo.
Kyokka ye KT Kavuma yagambye nti kumpi bandi yasaanawo dda emyaka ngena emabega nti Covid 19 yeeyagimaliriza.
Yagambye nti ye lwabutaygererawo naye bandi abadde yagivaako dda nga asigaza KT promotions nti kuanga n’ebiddonbo okutwaliza awamu byagwamu ssente ae n’omusaayi gwabayimbi abato ba Lutalo David n’abala kati gwe guliko ngokulemera ku bivvulu oyinza n’okufuuka omulogo kubanga oyinza okutegeka abaana ne bakukuba ekivvulu n’otondowala.
Yawagidde Ssemakula nti abayimbi banoekituufu bakuze ate balina n’ebirala ebyokukola naye yali talaa basobola kubalmerako nti bakuba kabuga ku kabuga ngabayimbi abamu balaba bakabinkana.
Bannabwe abalala Sseruga ne mukazi we nabo bagambye nti ssente teziggwa naye ekituufu bandi ekoze kekoze tewali ajja kugineyna nti bwekuba kuyimba bayimbye .