Amawulire

Ekizimbe kya Freeman ekyabadde ky’aggalwa aba KCCA olw’obutasasula musolo,kiggudwawo.

Abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya ssentebe wa Buganda Twezimbe Freeman Kiyimba ekya Freeman Hypermarket, bazzeemu okukakkalabya emirimu oluvannyuma lw’ekitongole kya KCCA okuggyako ssiiru ze yabadde ekitadde ku miryango gy’amaduuka g’abasuubuiz mu kiro eky’akesezza Olw’okubiri.

Omwogezi w’ekitongole kya KCCA Simon Kushyate, agambye nti oluvanyuma lw’omuggagga Freeman okusasula ebbanja ery’omusolo gw’obupangisa eryabade libanjibwa ekizimbe ekitongole kyaggyeeko siiru kati abasuubuzi baddukanya bulungi emirimu gyabwa.

Abasuubuzi abamu wetutuukiddde ku kizimbe nga bakola mirimu gyabwe era ne basaba embeera eno obutaddamu kubaawo kubanga mu Kampala olunaku lw’omala tokoze omusuubuzi abeera akoze loosi nene etagenda kumusasulwa

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top