Amawulire

Ekizinga kye Bussi kifunye amasannyalaze agasoose mu kitundu

Ekizinga kye Bussi ekisangibwa mu district ye Wakiso kifunye amasannyalaze agasookedde ddala mu kitundu kyabwe, agasuubirwa okuyamba okusitula eby’obusuubuzi n’emirimu emirala mu kitundu.

Amasannyakaze gano ag’amaanyi g’enjuba gawomeddwamu omutwe munnansi wa Canada Tonny Woodraugh ng’ayambibwako mikwano gye Ssentebe wa district ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika agambye nti project eno ebazizaamu amaanyi okusitula ebizinga bye Bussi, by’agambye nti bibadde bisigalidde nnyo emabega olw’obutatuusibwako buweereza busaanidde okuva mu government omuli amasannyalaze n’enguudo.

Bwanika agamba nti embeera eno eviiriddeko eby’obulamu n’ebyenjigiriza obutatambula bulungi ku kizinga, n’enkola za government endala nezitabatuukako.

Akulira abakozi mu district ye Wakiso Alfred Malinga agamba nti kati basuubira obuweereza okutambula obulungi ku bingi, nti kubanga n’abakozi ababadde basindikibwayo nga tebagendayo olw’embeera embi eri ku bizinga.Minister wa Kampala Hajati Minsa Kabanda akiikiridde Ssaabaminister Robinah Nabbanja agambye nti government egenda kukola ekisoboka okunogera eddagala ebizibu abakulembeze byebamulombojjedde, era naye kimubuseeko okulaba nga program za government nnyingi tezituuka ku bantu bomubizinga.
Mukalazi Charles Ssenkandwa ssentebe weggombolola ye Bussi agambye nti bamaze emyaka n’ebisuubo nga bawanjagira abakulu okubafunira ekidyeri ekituuka e Bussi, wamu n’amasannyalaze nga buteerere.

John Ochenge okuva mukitongole kya solargen akakasizza nti bagenda okutuusa amasanyalaze ku bantu 800 mu bbanga lyamyezi 18 ku nsimbi entono.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top