Amawulire

Ekkanisa ya Uganda ekungubagidde omugenzi Nsubuga.

Ekkanisa ya Uganda ekungubagidde Omugenzi Mzzey Nsubuga, Ssaabalabirizi Kazimba yeebaziza Katonda olwa Mzzey Nsubuga okubazaalira Canon era nagumya aba Famire nti Katonda anabukulemberanga mubuli nsonga.

Bino The Most Rev Dr Samuel Stephen Kaziimba Mugalu aby’ogeredde mububaka bwatiise Rev Canon Samuel.K.Waswa mukusaba kw’okwebaza Katonda olw’obulamu bw’omugenzi Mzzey Nsubuga Edward nga ye Taata Ven Rev Canon Edward Balamaze Kironde nga ye Ssabadiikoni w’eLugazi mu Bulabirizi bw’eMukono mu maka g’omugenzi mu Lusere Misindye mu Busumba bw’eKasoga.

Rev Daniel Balabyekubo nga ye amyuka Vicar wa Lutiiko y’Omutukuvu Fiiripo ne Andereya eMukono yabulidde mukusaba kuno akalatidde abakristaayo okufuba okuteekateeka obulamu bwabwe kubanga bagenda kufa okusinga okwenyigirra muby’ensi nebatafaayo okutereza enkolagana yaabwe ne Katonda

Rev Canon Samuel K Waswa bw’abadde atuusa obubaka bwa Ssabalabirizi Kaziimba ategezeza nti Omugenzi Nsubuga abadde ayagala nnyo eKkanisa ye era yeebaziza Katonda olwa Mzzey Nsubuga okubazaalira Canon era nagumya aba Famire nti Katonda anabukulemberanga mubuli nsonga.

Wabula ye Omulabirizi w’eMukono,Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala mububaka bwe obusomeddwa Ssaabadiikoni w’eKasawo Ven Rev Moses Munaku ,Ssebaggala yeebaziza nnyo Katonda olw’emirimu egikoleddwa omugenzi Nsubuga olw’okuwagira eKkanisa n’okukuza obulungi abaana omu n’afuka ne Canon mu Kkanisa ya Uganda.

Omubaka wa Lugazi Municipality mulukiiko olukulu olw’eGgwanga, Hon Stephen Sserubula Kinaalwa yayogedde kulw’abakulembeze okuva mu Greater Mukono agambye nti abakulu bano bakola nnyo okubasomesa nga ssente bazigya mu mwanyi n’asaba abaweereza ba Katonda okuvaayo okwogera ku nsonga eziruma bana Uganda naddala eri abo abakwatibwa ku nsonga ez’ekussa kuby’obufuzi kubanga baalina abantu bebalabirira.

Ven Canon Edward Balamaze Kironde ate nga ye Ssaabadiikoni w’eLugazi bw’abadde ayogerako eri abakungubaze yeebaziza nnyo Katonda olw’obulamu bwa Edward Nsubuga olw’okubawerera n’okubakuza obulungi nga abateekateeka okusobola okufuka kino kyebali kubanga abasajja bangi tebakyayagala kutukiriza buvunanyizibwa bwabwe.

Wabula ye Omubuulizi Kizito Musoke Ssaalong wa Kisaala Church of Uganda mu Busumba bw’eBuikwe omu kubazukulu yabadde amujjanjaba ayogedde kuby’obulwadde obubadde butawanya omugenzi are nga abadde mukwano gwe nnyo n’olwekyo yeebaziza bonna ababaddewo mukumujanaba ate n’abasawo abakoze omulimu omunene..

Omugenzi Edward Nsubuga yazaalibwa nga 15/1/1931 era nawasa nebagaatibwa ne mukyaala we Namwandu Deborah Nsubuga mu mwaka gwa 1962 okusaba kuno kwetabiddwako Ba Canon,Abasumba ,Ababuulizi,Abakulira ebitongole eby’enjawulo kumutendera gw’Obulabirizi,Brig Gen Kinaalwa,Ssentebe wa NRM eKayunga,Moses Kaliisa Kalangwa,Aba Lion’s Club eMukono n’abakulembeze ab’enjawulo n’abantu ba Katonda bonna.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top