ebyamasanyu

Ekyabadde ku Abryans Style and Fashion Awards

Okuva ku bassereebu okutuuka ku bantu baabulijjo bayambadde obwambalo obwedda bwe bagamba nti bwe buliko.

Bakira omu ayingira abantu ne bamukubira enduulu nga balowooza nti y’asinze ate bagenda okulaba ayingiddewo nga muka gw’abaddewo olwo enduulu ey’oluleekeleeke n’elaya.

Mu bakyala kyalabise nga bangi bambadde ebiteeteeyi ebiriko amayinja ekyaletedde bangi abaabaddewo okulowooza nti be balina okugula kubanga bye biriko.

Bangi era beesaze ebiteteeyi ebiriko zi siriiti ezaalagirwa ng’oyinza okulowooza nti ensonyi baazinaabira mu ngalo!

Bassereebu okwabadde Spice Diana, Fik fameica, Rickman, Bad Black, GNL Zamba n’abalala bangi baabaddewo nnyo okwolesa emisono.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top