Abakristu bangi beetabye mu kunyenyenya amatabi mu Eklezia ez’enjawulo.
Ku kiggwa ky’Abajulizi e Munyonyo Abakristu bakulembeddwa embalasi eyabaddeko omuyimbi ng’alaga engeri Yezu Kristu gye yayingiramu Yerusaleemu.
Abakristu bangi babadde bamugoberera nga bwe bagenda basaakanya ennyimba ezigulumiza Omukama.
Ate ku kigo ky’Omutuukirivu Padre-Pio e Kabulamuliro, ennyiriri bazitandikidde ku kizimbe kya Voice Mall Hotel e Bwebajja ne bagenda nga batambula nga bwe basaakanya ennyimba ez’enjawulo.
Abakristu bazibye oluguudo okumala essaawa nnamba n’okusoba, era emmotoka ezibadde ziva e Kampala zibadde tezirina we ziyita okugyako okubalinda bagende mu maaso nga bwe bakuumibwa abapoliisi erudda n’erudda.
Kyokka bbo ababadde badda e Kampala babadde balina okulinda ebbanga eriwerera ddala okulaba nga tebatomera bantu. Batambudde kiromita ttaano n’okusoba.