Amawulire

Ekyuma kya Sukaali kiridde omukozi.

 

Poliisi mu disitulikiti y’e Luweero etandiise okunoonyereza ku nfa y’omukozi mu fakitole ya sukaali eya Victoria.

Isaac Rwothomiyo myaka 25 abadde mutuuze ku kyalo Ndibulungi mu ggoombolola y’e Butuntumula mu disitulikiti y’e Luweero.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, Sam Twineamazima, okunoonyereza kulaga nti Rwothomiyo ekyuma kyamulidde era yafiiriddewo olunnaku olw’eggulo ku Mmande ku ssaawa 3 ez’okumakya

Poliisi egamba nti yafunye essimu okuva eri akulira ensonga z’abakozi mu Fakitole ya Victoria era amangu ddala yatuuse era omulambo gwasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Twineamazima agamba nti okunoonyereza kulaga nti waabaddewo obulagajjavu mu nzirukanya y’ebyuma, ekyavuddeko Rwothomiyo okufa.

Poliisi egamba nti abakozi bagiddwako sitetimenti era okunoonyereza kuli mu ggiya nnene era bayimiriza emirimu mu Fakitole.

Ate ekitongole ekinoonyereza ku misango mu kitongole ekya Poliisi, kisobodde okusindika fayiro mu offiisi ya ssaabawaabi ba Gavumenti, ku abantu abaakwatibwa ku by’okutta Joan Namazzi Kagezi.

Joan Namazzi Kagezi, yattibwa nga 30, March, 2015 nga mu kiseera ekyo, yeyali amyuka ssaabawaabi ba Gavumenti era yali mu musango gw’abantu 13 abaali baakwatibwa ku by’okutega bbomu mu Kampala mu July, 2010 ku fayino za World Cup omwafiira abantu 79.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top